ABANTU abasoba mu 300 baakukulumye poliisi bw'erinnye eggere mu lukiiko mwe bayitiddwa Dr. Daniel Denis Ssemugenyi abeera e Bulaaya abasomese ku kusimba emiti n’okwekulaakulanya.
Poliisi yagaanye olukiiko n’eragira buli eyabadde ayitiddwa okwamuka ekifo nga tannaba kukwatibwa. Abaabadde bakung'aanye nga buli kimu kiwedde nga ne weema bazitaddeyo bannyogoze.
Baayimbye nti baabadde basuubira bingi . Olukiiko lwabadde lwakubeerayo ku Lwomukaaga mu kisaawe kya Nabweru era abantu baabadde bayise bangi naye bonna baagaaniddwa.
Ku ssaawa ssatu ku Lwomukaaga nga buli kimu kyategekeddwa dda era nga bbaasi zimaze okuyiwa abantu okuva mu disitulikiti ezenjawulo, Poliisi y’e Nansana yalagidde nti olukiiko terumanyi era teruteekeddwa kubeerawo. Abategesi baggyeeyo ebbaluwa eriko omukono gwa Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi nga eriko sitampu ya poliisi gye yafuna nga July. 31 2025 eraga nti baagitegeeza.
Ku ssimu , Dr. Ssemugenyi yeewunyizza engeri poliisi gye yamwegaanye n’emufiiriza byonna bye yabadde ataddemu okukung'aanya abantu okuva mu bitundu ebyenjawulo ate nga yabadde agenderera kuyamba bannansi kubasomesa ku bwereere.
Yayombye nti kino kikolwa kya butitiizi nga buli ekyagala okukolebwa bakirabira mu byabufuzi era waliwo abantu abatalumirirwa bannansi mu ggwanga kubanga mu bbaluwa ya poliisi yataddemu omulamwa nti gwabadde gwa kusimba miti okukuuma obutonde bwensi .
“Njagala buli akuza olunaku lw'amazaalibwaage , tumuwe emiti egyenkanankana n’emyaka gy'amaze ku nsi agisimbe nga ffe tugimuwadde,” Ssemugenyi bwe yategeezezza .
Nnaayanjula nti entegeka eno teriimu byabufuzi wabula okukuuma obutonde bwensi era yagituuma 'Every Birthday Tree Day Initiative [ EBTDI] . Yagambye nti byonna yabitadde mu bbaluwa ya poliisi ng’abategeeza ku lukung'aana luno lwe yabadde asuubiramu abantu 300 era yasoose kuwandiikira bakulembeze ba kyalo abatwala ekisaawe ekyo nabo ne bakimanyaako.
Kyokka omumyuka w’omwogezi wa poliisi atwala Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yagambye nti olukiiko baabadde tebannaba kwetegereza bulungi bigendererwa byalyo. Abamu ku bategesi baategeezezza nti baaganiddwa olwokuba baabadde balabye entegeka nga ya bbeeyi ate n’abantu nga bagenda kuba bangi nnyo.
Dr. Daniel Dennis Ssemugenyi ye yaloopa Gavumenti mu kkooti olw’okukola ennongoosereza mu kkooti y’amagye (UPDF ) n'ezzaamu obuwaayiro obulagira abantu ba bulijjo okuvunaanibwa mu kkooti eno ate nga yali eggyiddwaako kkooti ensukkulumu .
Yeemulugunya nti Gavumenti tekoze kimala kulwanyisa bwavu mu bannansi n’okukuuma obutonde bw’ensi ssaako n’enteekateeka z’okulonda , tezikwatiddwa bulungi kubanga enkalala n’okusomesa abantu kuluddewo.