Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Kaganda ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Akabenje, kabaddemu emmotoka nnamba UBA 525M Rav 4 ebadde edda Mbarara bw'etomereganye ne Fuso nnamba UBN 926 W ebadde edda e Masaka era omu ku babadde mu Rav 4 Kalu Sagna Kami Nouwat ow'eggwanga lya Togo, n'afiirawo ate ddereeva waayo Moses Mashate n'atwalibwa mu ddwaaliro e Masaka ng'ataawa.
Rav 4 mwe yabadde yayambalaganye ne Fuso
Omwogezi wa poliisi mu greater Masaka Twaha Kasirye agambye nti walibaawo okuvugisa ekimama ku ddereeva wa Rav 4.
Ate kamunye nnamba UBN 114 V eremeredde ddereeva waayo n'egwa ne yeefuula emirundi egiwerako e Kaliisisozo ku 18 n'erumya abantu 8 nga bonna batuuze b'e Kyandaaza ne Byakabanda e Rakai. Kasirye asabye abantu okuvuga n'obwegendereza kuba oluguudo lulongoosebwa.
Kamunye eyeefudde.