OMUNTU omu abaabadde atambulira ku pikipiki , afiiriddewo mbulaga, mmotoka bw'emutomeredde e Lukomera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Luweero.
Charles Mugambe 32, omutuuze w'e Bunga e Ggaba mu Kampala kyokka ng'abadde avuga pikipiki nnamba UEX 214 P, y'afiiridde mu kabenje , mmotoka FUSO nnamba UBM 734 F ebadde evugibwa Joseph Kawooya bw'emutomeredde e Lukomera e Luweero n'afa.
Kigambibwa nti FUSO ebadde eva Kampala okudda e Ggulu , owa Pikipiki abadde atisse abantu babiri , nti kwe kuyingira ekkubo ng'adda e Luweero nti mu kugezaako okuyisa, kwe kusisinkana ne FUSO ne bambagalagana.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Tweanamazima , agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Luweero okugwekebejja ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.