Abantu abatannamanyika basse omukazi ne bamupakira mu kkutiya omulambo gwe ne bagusuula mu Mugga nga bagusibyemu omuguwa.
Bibadde mu mugga Ntungwa e Kannungu era nga gulabiddwa abaana ababadde bavuba ebyennyanja.
Batemezza ku ssentebe wa LC 1 e Kanabizo cell mu muluka gw'e Ntungwa mu Ggombolola y'e Nyamirama e Kanungu naye n'atuma defensi David Kasigeire atemezza ku poliisi .
Omwogezi wa poliisi e Kigezi, Elly Maate, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lya Kannungu health centre iv okugwekebejja ng'okunoonyereza kukolebwa.