Omuliro gukutte ekkolera e Kapeeka ne gwokya emigugu n'obuuma obulondoola ebyamaguzi!

Kigambibwa nti omuliro we gukwatidde, tewabadde mmotoka ezikiriza muliro era nga waliwo gye batumizza okuva ku bakola oluguudo n'eyambako okuguzikiriza

Omuliro gukutte ekkolera e Kapeeka ne gwokya emigugu n'obuuma obulondoola ebyamaguzi!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Muliro #Kukwata #Kulondoola #Buuma #Kwokya #Migugu

Ebintu bisaanyeewo omuliro bwe gukutte ekkolero e Namunkekeera Industrial park e Kapeeka Nakaseke. 

Kigambibwa nti omuliro we gukwatidde, tewabadde mmotoka ezikiriza muliro era nga waliwo gye batumizza okuva ku bakola oluguudo n'eyambako okuguzikiriza. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima, agambye nti okubuuliriza ku kivuddeko omuliro kukolebwa. 

Agasseeko nti ebiyidde, mu baddemu obuuma obolondoola emigugu gy'ebyamaguzi , ffayiro n'ebirala. 

Kisuubirwa nti omuliro gwandiba nga guvudde ku masannyalaze agabadde gaggya nga bwe gavaako era ebintu ebiwerako ne bijjiramu mu muliro guno.