PULEZIDENTI Museveni awadde amagezi kampuni z'amata okwenyingira mu kufulumya amata g'obuwunga olw'ensonga nti mawangaazi era mangu okutambuza n'e bweru w’eggwanga.
Okwogera bino abadde aggulawo ekkolero ly'amata erya Royal milk e Nalukolongo mu Lubaga division.
Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab'enjawulo omubadde Omubaka w'e Lwengo Cissy Namuju, Minisita w'abavubuka Balaam Barugahare, omugagga Hassan Bulwadda, Omuwabuzi wa pulezidenti Sarah Kanyike n'abalala bangi.

Museveni ng'aggulawo ekkolero lya Royal Milk
Kampuni eno yatandikibwawo Alhaji Buruhan Kigoye mu mwaka gwa 1995 nga agula amata okuva ku bagandabe ne baliranwabe e Kijunjuba mu disitulikiti y'e Masindi n'agatikka mu bidomola okugaleeta e Bwaise weyatandikira n'agenda ng'agaziwa okutuusa lwavuddemu kampuni eno kati edukanyizibwa mutabaniwe Saleh Kigoye.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti obuwumbi bwa liita z'amata 5.3 bwe bufulumizibwa okuva mu kampuni z'amata kyokka bannayuganda banywako obukadde 800 bwokka n’awabula abaddukanya kampuni ya royal milk nti batunuulire ku ky'okwenyigirako mu kukola amata ag'obuwunga
Asiimye akulira kampuni eno Saleh Businge Kigoye ne banne olw’okutwala mu maaso omulimu gwa kitaabwe.
Saleh Businge asiimye Pulezidenti olw'emirembe egibasobozesezza okukola era nategeeza pulezidenti nga abavubuka bwebaagala okukola kuba bangi basaba emirimu wadde nga bonna tasobola kugibawa nasaba pulezidenti obuwagizi asobole okulwanisa ebbula ly'emirimu mu bavubuka.

Pulezidenti Museveni ng'aggulawo kkampuni ya Royal Milk
Wano abasuubizza okubagulira ekyuma ekikola amata amawangaazi ekiyitibwa Ultra Heats Treatment (UHT) basobole okufulumya amata amangi basobole okuwa abavubuka emirimu
Minisita w'abavubuka Balam Barugahare yeebazizza Pulezidenti okwagala abavubuka era namusaba okwongera okuwagira abavubuka abatandiikawo emirimu
Kitunzi wa royal milk Sudaisi Abdul Kirunda asiimye bannayuganda ababawagidde ebbanga lyonna era nalambulula ku muwendo gw'abavubuka gwe basobodde okuwa emirimu era nasuubiza okukuuma omutindo.
Ambasada w'omukago gwa bulaaya mu Uganda Sadik Jek omu ku batadde ettofaali ku kampuni eno yeebaziza Pulezidenti Yoweri Museveni olw'okukubiriza bannayuganda okwongera omutindo ku by'amaguzi bya Uganda ekiviiriddeko amakampuni nga gano okukula okuyamba ku nkulakulana ya Uganda eyawamu.