ABAWAGIZI b'ekibiina Kya NRM mu distulikitti ye Oyam ne Pakwach bakubiriziddwa okwaniriza pulezidenti Museveni mu bungi bwanabera agenze mukitundu kyabwe okunoonya akalulu .
Gen.Museveni olunaku olwenkya lwagenda okufundikira okunoonya akalulu mu bitundu by'e Lango yadde nga asuubirwa nti agya kumala akomewoko mu kiseera ekiribeera kirambikidwa okunoonya akalulu mu distulikitti y'e Kole ,Lira ne Lira City nga eno yabadde ateekedwa okukubayo kkampeyini leero kyokka natasobola olw'emirimu egy'obwa pulezidenti egyamukute..
Mukwogerako ne bannamawulire olwaleero e Lango avunanyizibwa kubyamawulire mu kibiina Kya NRM Emmanuel Dombo yategeezeza nti kkampeyini za Museveni zitambulira ddala bulungi era yoomu kubesimbyewo abagoberede obulungi ebiragiro by'akakiiko k'ebyokulonda mukunoonya akalulu Kano .
Wabula Dombo yasabye abalonzi okwewala ababanoonyamu akalulu nga babasubiza ebitasoboka naawa eky'okulabirako eky'akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi eyagambye nti singa bamulonda wakugyawo ssente za PDM nategeeza nti ekyo kikyamu .
Maj. ( Rtd) Awich Pollar eyakulembedemu abakwanaganyiza okukunga banna NRM e Lango mu mattivu nti ku luno pulezidenti Museveni wakuwangulira waggulu ddala mukitundu kino nti era n'abamu ku bakulembeze b'oludda oluvuganya mukitundu kino nga aba UPC beyamye okunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu.