GAVUMENTI eragidde ggaadi z’ebyuma ku bidduka ziggyebweko olw’okutaasa obulamu bw’abantu.
Egamba nti wadde nga ekigendererwa kya ggaadi zino eri abaziteeka ku bidduka mu maaso oluusi n’emabega kuba kutaasa bidduka obutonnoneka singa biba bikooneddwa ba ddereeva abalagajju naddala abagoba ba bodaboda , beesangze ng’abantu baabulijjo naddala abatambuza ebigere nga bebaluguddemu.
Okwekebejja ebidduka
Ying. Kharim Kibuuka akulira eby’okwekebejja ebidduka (Inspector of Motor Vehicles –IOV) mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula ygambye bakizidde ng’abantu abandiwonye mu bubenje obu obutakosebwa nnyo , ggaadi zino zongera okusajjula embeera .
Yabadde ku musomo ogukwata ku ntekateeka y’okwekebejja ebidduka mu nkola ey’obuwaze (Mandatory vehicle Inspection ) buli luvanyuma lwa bbanga ggere ku kifo aweekejjebwa ebidduka e Nammanve ku Lwokuna n’abamba nti tewali mukozi wa mmotoka yenna mu nsi ateeka ggaadi ku kidduka n’ekigendererwa kya kutaasa bulamu bwa bantu,
Yagambye nti baasezeewo ggaadi zino ziggyibwe ku biddukagale mu mitendera ng’okyusaako omuntu yenna bw’anaatwala ekidduka okukyekebejja bagenda kulagirira ara aweebwe ebbaluwa mu butongole emulagira okuziggyako era esigale ku mukutu ogugabanibwa ebitongole eby’enjawulo nga ne poliisi kweri olwo omulundi okuddako mu kwekebejja ekidduka bwekiba tekikoleddwa mmotoka eba teyisibwa ng’etuukiridde okubeera ku kkubo.
“Oluusi ggaadi zino ziwaga abagoba b’ebidduka ne batuuka okuvuga nga tebeefirayo olw’okuba balina ekibataasa wabula ng’abantu abatambuza ebigere ate nga bebasinga obungi mu kkwanga besanga bebaluguddemu era nga bangi zibamenye amagulu ssaako n’okubatta.
Ebyuma by'emmotoka oba ziyita ggaadi ezigobeddwa ku mmotoka
Ye Winstone Katushabe kamisoma mu minisitule eno avunayizibwa ku mateeka g’ebidduka n'okuklwanyisa obubenje ku nguudo yagambye nti abantu tebalina kutwala ntekateeka eno ey’okwekebejja ebidduka ng’omugugu obubatiddwa wabula kukoleddwa okutaasa obulamu bw’abantu eri ebidduka ebitasaanidde kubeera ku kkubo.
Yagambye nti entekateeka yatandikidde na kusomosa bantu aba’enjawulo omuli abadduka eby;entambula mu minisitule n’ebitongole bya gavumenti , abaddukanya omulimu gwa bbaasi ,abatakisi ne bodaboda ssaako n’abalala ku biki ebyetaagisa n’engeri gy’ekikolebwamu ssaako ne ssente ezisasuzibwa.
“ Okwekebejja ebidduka kwatandikidde mu mmotoka za gavumenti ng’akabonero akalaga nti nayo efaayo ku bidduka byayo olwo tuzzeeko mmotoka ezisaabaza abantu ba lukale omuli ne bodaboda , takisi , Coaster ne bbaasi, ez’emigugu olwo tusembyeyo ezaabuyonjo ,” Katushabe bweyagambye,
Yagambye nti tewakyali kwekwasa nsonga yonna eremesa muntu kutwala kidduka okukyekebejja kuba ssente zaasaliddwa nnyo okuva kwezo ezaali zisasuzibwa aba kkampuni ya SGS eyali epataniddwa okukola omulimu guno ku ntandikwa.