Amawulire

Gavumenti ewadde ekiragiro ebyuma bya ggaati ebissibwa ku mmotoka babiggyeko

GAVUMENTI eragidde  ggaadi  z’ebyuma ku bidduka ziggyebweko olw’okutaasa obulamu bw’abantu.   

Omukungu wa Minisitule y'entambula nga bali mukwekebejja ebidduka
By: Samuel Balagadde, Journalists @New Vision

GAVUMENTI eragidde  ggaadi  z’ebyuma ku bidduka ziggyebweko olw’okutaasa obulamu bw’abantu.

Egamba nti wadde nga ekigendererwa kya  ggaadi zino eri abaziteeka ku bidduka mu maaso   oluusi n’emabega kuba kutaasa bidduka obutonnoneka singa  biba bikooneddwa ba ddereeva abalagajju naddala abagoba ba bodaboda , beesangze ng’abantu baabulijjo  naddala abatambuza ebigere nga bebaluguddemu.

Okwekebejja ebidduka

Okwekebejja ebidduka

Ying. Kharim Kibuuka akulira  eby’okwekebejja ebidduka (Inspector of Motor Vehicles –IOV)  mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula  ygambye bakizidde ng’abantu abandiwonye mu bubenje obu obutakosebwa nnyo , ggaadi zino zongera okusajjula embeera .

Yabadde  ku musomo  ogukwata ku ntekateeka y’okwekebejja ebidduka  mu nkola ey’obuwaze (Mandatory vehicle Inspection ) buli luvanyuma lwa bbanga ggere ku kifo aweekejjebwa ebidduka e Nammanve ku Lwokuna n’abamba nti tewali mukozi wa mmotoka yenna mu nsi ateeka ggaadi ku kidduka n’ekigendererwa kya kutaasa bulamu bwa bantu,

Yagambye nti baasezeewo ggaadi zino ziggyibwe ku biddukagale  mu mitendera ng’okyusaako omuntu yenna bw’anaatwala ekidduka okukyekebejja bagenda kulagirira ara aweebwe ebbaluwa mu butongole  emulagira okuziggyako era esigale ku mukutu ogugabanibwa ebitongole eby’enjawulo nga ne poliisi kweri  olwo omulundi okuddako  mu kwekebejja ekidduka bwekiba tekikoleddwa  mmotoka eba teyisibwa ng’etuukiridde okubeera ku kkubo.

“Oluusi ggaadi zino ziwaga abagoba b’ebidduka ne batuuka okuvuga nga tebeefirayo olw’okuba balina ekibataasa wabula   ng’abantu abatambuza ebigere ate nga bebasinga obungi mu kkwanga besanga bebaluguddemu era nga bangi zibamenye amagulu ssaako n’okubatta.

Ebyuma by'emmotoka oba ziyita ggaadi ezigobeddwa ku mmotoka

Ebyuma by'emmotoka oba ziyita ggaadi ezigobeddwa ku mmotoka

Ye Winstone Katushabe kamisoma mu minisitule eno avunayizibwa ku mateeka g’ebidduka n'okuklwanyisa obubenje ku nguudo  yagambye nti  abantu tebalina kutwala ntekateeka eno ey’okwekebejja ebidduka ng’omugugu obubatiddwa  wabula  kukoleddwa okutaasa obulamu bw’abantu eri ebidduka ebitasaanidde kubeera ku kkubo.

Yagambye nti entekateeka yatandikidde  na kusomosa bantu aba’enjawulo omuli abadduka  eby;entambula mu minisitule n’ebitongole bya gavumenti , abaddukanya omulimu gwa bbaasi ,abatakisi ne bodaboda  ssaako n’abalala ku biki ebyetaagisa  n’engeri gy’ekikolebwamu ssaako ne ssente ezisasuzibwa.

“ Okwekebejja ebidduka kwatandikidde mu mmotoka za gavumenti  ng’akabonero akalaga nti  nayo efaayo ku bidduka byayo  olwo tuzzeeko mmotoka   ezisaabaza abantu ba lukale  omuli ne bodaboda , takisi ,  Coaster ne bbaasi,  ez’emigugu olwo tusembyeyo ezaabuyonjo ,” Katushabe bweyagambye,   

Yagambye nti tewakyali kwekwasa nsonga yonna eremesa muntu kutwala kidduka okukyekebejja kuba ssente zaasaliddwa nnyo okuva kwezo ezaali zisasuzibwa aba kkampuni ya SGS eyali epataniddwa okukola omulimu guno ku ntandikwa.

Tags: