PULEIDENTI Museveni atadde omukono ku bbago ly’etteeka ly’emmwaanyi eryaggyeewo ekitongole ekibadde kitumbula omutindo gw’emmwaanyi ekya UCDA.
Kati ebbago lino erya National Coffee (Amendment) Bill 2024 lifuuse tteeka oluvannyuma lwa Pulezidenti okulissaako omukono era kati emirimu gyonna egibadde gikolebwa ekitongole kya UCDA, obuvunaanyizibwa buweereddwa minisitule y’Ebyobulimi.
Bw'etyo UCDA eyatandikibwawo mu 1991, ng'erondoola omutindo gw’emmwaanyi okukakasa nga tezinnatundibwa bweru wa ggwanga zituukana n'akatale kaayo, bwe kisattuluddwa oluvannyuma lw’emyaka 33.
Etteeka lino okusindikibwa ewa Pulezidenti okulissaako omukono, kyaddirira Palamenti okuliyisa mu November mu lutuula olwakubirizibwa Sipiika Anita Among wakati mu bunkenke n’enkalu era n’eng'uumi yanyooka gattako n’okuwaanyisiganya ebisongovu ng’ababaka aba NRM bafungizza okuliyisa sso ng'abooludda oluvuganya basimbye ekkuuli.
Wabula oluvannyuma ebbago lyayisibwa ng’ababaka abooludda oluvuganya beekandazze okuggyako Nandala Mafabi owa FDC