Bp. Bukomeko agugumbudde bannabyabufuzi abawabya abazadde

OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mityana, Bp. James Bukomeko atabukidde abazadde abeesuulirayo ogwa nnaggamba okusasula ebisale ku masomero ekiva ku bannabyabufuzi ababapokerera ebigambo.

Bp. Bukomeko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mityana, Bp. James Bukomeko atabukidde abazadde abeesuulirayo ogwa nnaggamba okusasula ebisale ku masomero ekiva ku bannabyabufuzi ababapokerera ebigambo.
Yabadde asisinkanye abayizi b’amasomero mu busaabadinkoni bw’e Bamusuuta mu Kiboga mu kaweefube gw’aliko okulambula amasomero mu bulabirizi bw’e Mityana ng’azzaamu abayizi essuubi.
Yagugumbudde bannabyabufuzi abayingira mu masomero nga tebafunye lukusa okuva mu bagakulira ne bagaana n’abazadde okusasulira abaana ekyemisana.
Bishop Bukomeko yasabidde n’abayizi abali mu bibiina ebyakamalirizo. Ssaabadinkoni w’Obusaabadinkoni bw’e Bamusuuta, Francis Ssimbwa wano we yasabidde abazadde okwewala okuwuliriza ebigambo bya bannabyabufuzi abeenoonyeza ebyabwe.
Ye akulira essomero lya Bamusuuta SS, Stanley Lukeera yategeezezza nti amasomero mu Kiboga gasanga okusoomoozebwa omuli abazadde obutawa baana kyamisana na bikozesebwa ssaako abasomesa okuba abatono ekivuddeko abayizi obutakola bulungi.