Abakristaayo basiimye Can. Kisawuzi

DIINI wa Lutikko y’e Namirembe eyaakawummula, Canon Jonathan Kisawuzi Ssaalongo, mukyalawe Ruth Kisawuzi baasanyufu bya nsusso Abakristaayo ba Lutikko bwe baabasiibudde mu ngeri ey’enjawulo ne babakwasa kapyata y’emmotoka ekika kya Ford Ranger.

Can. Kisawuzi ne mukyala we Ruth Kisawuzi nga beebaza Abakuristaayo ba Lutikko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

DIINI wa Lutikko y’e Namirembe eyaakawummula, Canon Jonathan Kisawuzi Ssaalongo, mukyalawe Ruth Kisawuzi baasanyufu bya nsusso Abakristaayo ba Lutikko bwe baabasiibudde mu ngeri ey’enjawulo ne babakwasa kapyata y’emmotoka ekika kya Ford Ranger.
Omukolo gwabadde Namirembe gye buvuddeko. Gwatandise n’okusaba okw’okussa ekimu okwabaddemu abaawule abawerako nga Viika wa Lutikko, Rev. Emmanuel Lutaaya, Rev. Joseph Luvumu, Rev. Samuel Magumba, Diini omupya Venerable Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga n’abalala.
Mu bubaka bwe, Canon Kiwanuka yategeezezza nti Canon Jonathan Kisawuzi ne maama Ruth Kisawuzi baweerezza bulungi n’amaanyi n’okwagala, ate nga tewali nziro eboogerwako nga y’ensonga lwaki Abakristaayo baabasiimye mu ngeri ey’enjawulo.
Yeebazizza olukiiko olwakoze ku kirabo, olubadde lukulemberwa Timothy Mabiriizi olw’okuggusa omulimu guno.
Canon Kisawuzi yatenderezza enkwatagana Abakuristaayo ba Lutikko y’e Namirembe gye bataddewo ne Bannayuganda abali e Bungereza ne America nga bakozesa emikutu emigattabantu.
Omukolo gwetabiddwaako n’omukubiriza wa Lutikko, Munnamateeka Freddie Mpanga, Sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwaga Mugumbule ne Ssaabalamuzi wa Uganda eyawummula, Samuel Wako Wambuzi