PREMIUM
Amawulire

Pulezidenti alagidde ku bya konteyina z’abasuubuzi ezaakwatibwa

PULEZIDENTI Museveni alagidde ekitongole ky’omusolo ekya URA okuwa abasuubuzi abeegattira awamu ne baleeta ebyamaguzi mu konteyina zaabwe ezisukka 600, ze baabadde baakwatira ku nsalo okuva mu March/2025, olw’enkola empya eyadibya abantu okusasulira omusolo ku TIN number y’omuntu omu.

Hellen Seku (wakati) akulira ofiisi ya mwoyo gwa ggwanga ng’ayaniriza Pulezidenti Museveni e Muyenga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni alagidde ekitongole ky’omusolo ekya URA okuwa abasuubuzi abeegattira awamu ne baleeta ebyamaguzi mu konteyina zaabwe ezisukka 600, ze baabadde baakwatira ku nsalo okuva mu March/2025, olw’enkola empya eyadibya abantu okusasulira omusolo ku TIN number y’omuntu omu.
“Abasuubuzi mpulidde omulanga gwammwe gwe mwayisizza ewa kamisona wa mwoyo gwa ggwanga Hellen Sseku nga mulaajana nti ebintu byammwe URA yabikwatira ku nsalo mu konteyina era ndagidde URA ezite musobole okusasula mu nkola enkadde eyitibwa ‘groupage’ kyokka bwe kiggwa mugoberere enkola empya eriwo” Museveni bwe yategeezezza.
Bino Museveni yabyogeredde ku mukolo ogwabadde gutegekeddwa okuggulawo ofiisi z’ekibiina kya Mwoyo gwa ggwanga ekulemberwa Sseku, nga gwabadde gutegekeddwa Muyenga mu munisipaali y’e Makindye, wadde nga teyagguddwaawo.
Museveni era yasisinkanye ebibinja bya Bannakampala eby’enjawulo ebyannyikira enkola ya mwoyo gwa ggwanga okuli abasomesebwa mwoyo gwa ggwanga, obubondo bw‘abakola emirimu nga ab’omu butale, abakyala bannakyeyombekedde n’abakunzi abanoonyeza NRM akalulu nga yabasisinkanidde ku Hotel International 2000 e Muyenga.
Museveni okuvaayo okuwa URA ekiragiro kino kiddiridde ssentebe w’ekibiina ky‘abasuubuzi ekya FUTA, John Kabanda ne Hussien Kato owa KAAFO okutukkirira Sseku abayambe abatuusize okusaba kwabwe eri Museveni ku konteyina z’abasuubuzi ezisukka 600 ezaakwatibwa ku nsalo okuva mu March/2025 ziteebwe basobole okusasulira mu nkola enkadde.
Mu ngeri y’emu, Museveni yalagidde omuwandiisi we, ow’enkalakkalira okusisinkana ebibiina byonna ebitwala abasuubuzi bamubuulire ebizibu byabwe ebibaluma abimanye oluvannyuma abasisinkane mu bwangu alabe bw‘asobola okugonjoola ensonga zaabwe.
Museveni yagambye nti wadde ku byamuleese yabadde alina okuggulawo ofiisi ya Mwoyo gwa ggwanga naye ekyo ajja kukikola olulala.
Yalagidde Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Twodong okutuula na buli kabinja obubadde bwagala okubeera nga bwetengeredde okumunoonyeza akalulu bumubuulire lwaki tebaagala kukola nga bayita mu mitendera gy’ekibiina egirambikiddwa.
ASUUBIZZA ABAKYALA BA SALUUNI
Yalagidde minisita w’ensonga z’obwapulezidenti, Milly Babalanda akwatagane ne minisita wa Kampala, Minsa Kabanda balabe bwe basobola okuteeka munkola eky’abakyala abalina saluuni kye bamusabye nga bayita mu Sseku okutandika okukolera ku myaliro egisembayo ku butale bwa gavumenti waggulu okwetooloola eggwanga.
Yasiimye Sseku okubeera omuwala omukozi kubanga yaakamala mu ofiisi omwaka gumu n’emyezi munaana kyokka asobodde okutendeka Bannayuganda mwoyo gwa ggwanga 250,000, okugatta ku 200,000 be yasangawo kati omugatte bawera 450,000.
Omukolo gwetabiddwaako ebikonge okuva mu gavumenti, abasuubuzi, bannaddiini okuli ba minisita Haruna Kasolo, Milly Babalanda, Evelyne Anite, Ssaabawandiisi wa NRM Richard Twodong, Omubaka wa Namibia mu Uganda, Godfrey Kirumira ne mukyala we Suzan Kirumira ne ssentebe wa Bavandimwe mu Uganda, Frank Gashumba eyawadde Pulezidenti ekirabo ky’ekifaananyi kye okumwebaza okubawonya okuddamu okubawa densite

Tags: