BAKAZIBAGGYA balemeddwa okukkaanya ku kifo we baba baziika omwami waabwe, okukkakkana nga buli omu asimye entaana ewuwe.
Ekyaddiridde kwabadde kulwanira mulambo nga gutuusiddwa, era poliisi yayitiddwa bukubirire okutaasa embeera.
Bino byabadde ku kyalo Mikonyi mu muluka gw’e Buyamba mu ggombolola y’e Ddwaaniro e Rakai.
Eyafudde ye Hajji Saad Sserugoonzi nga abadde n’abakyala babiri okuli; mukyala mukulu, Shifah Nabukenya ne mukyala muto amannyiddwaako erya Nantongo.
Hajji Sserugoonzi yafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago mu Kampala gye yabadde amaze wiiki ssatu ng’ali ku kitanda.
Omulambo bwe gwaleeteddwa ku mu kyalo bakyala be n’abaana baatandikiddewo okukaayana ku maka w’alina okuziikibwa, nga buli mukazi agamba nti ateekeddwa kuziikibwa mu maka ge. Amaka g’abakyala bombi galiraanayanye nga omu ali kyengulu ate omulala kyemmanga.
Ekyavudde mu kukaayana kwabadde kwugwang’ana mu malaka, abatuuze kwe kuyita poliisi okuva ku kitebe e Rakai ejje ebatawulule.
Akulira poliisi eno, Innocent Ainomugisha bwe yatuuse yabasabye bakkaanye kyokka ne balemererwa, kwe kusalawo omulambo n’agubaggyako ne gutwalibwa mu ggwanika ekkulu e Rakai.
Abamu ku batuuze baategeezezza Bukedde nti ffamire zombi zibadde zeerumiriza nti emu y’ebadde esinga okujjanjaba omugenzi mu kaseera w’abeeredde omulwadde kyokka abalala nga bagamba nti mukyala muto abadde yasukka obujoozi nga yali yeefunza omugenzi.
Omukulu w’ettwAale lya Kooki East, Sheikh Mahad Kiberu obuzibu yabutadde ku bazadde abatakyafaayo kusomesa na kulambika baana baabwe mu ddiini ekireeseewo obusiiwuufu bw’empisa.
Ye amyuka District Kadhi w’e Rakai, Sheikh Ibrahim Jjingo ng’ali wamu ne ssentebe w’eggombolola ye Ddwaniro, Yiga Tom Mulindwa baasabye abantu naddala abakuliridde mu myaka okulambikanga ffamire zaabwe naddala nga bayita mu biraamo kino kimalewo obunkenke obubalukawo nga bafudde.
Omwogezi wa poliisi owa Greater Masaka, Twaha Kasirye yagambye nti embeera ebaddewo y’ebawaliriza okuyungula basajja baabwe okukkakkanya embeera, kwe kubaggyako omulambo.
Yagambye nti abaffamire baaweereddwa amagezi bagende mu kkooti esalewo ekifo omugenzi waaba aziikibwa, kubanga abaffamire balemeddwa okukkaanya