OBWAKABAKA bwa Buganda busiimye emirimu gy’omugagga wa Bukoola Chemical Industries Ltd, omugenzi Dr. Paul Mawanda Kyabaggu eyafudde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde gwe bwogeddeko ng’abadde omusajja ow’amaanyi omukozi era omuyiiya.
Bino bibadde mu bubaka Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga bwe yatisse omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Ahmed Lwasa mu kusabira omwoyo gw’omugenzi eggulo mu Lutikko e Lubaga.
Yamwebazizza olw’okutandikawo essomero lya St. Joseph of Nazareth e Katende eriyambye ennyo okuweerera abateesobola naddala ab’Obwakabaka bwa Buganda.
Yagambye nti, omugenzi ayagadde nnyo eddiini ye, aweerezza Klezia okutuusa bw’awummudde. Ayagadde nnyo Obwakabaka ne Kabaka we era aweesezza Nnamulondo ekitiibwa.
Ye Ssaabasumba eyawummula, Augustine Kasujja eyakulembeddemu Mmisa yagambye nti, Klezia efiiriddwa Omukristu ow’amaanyi ddala ate ng’awagira nnyo emirimu gyayo era eyaliko Ssaabakristu wa Lubaga.
Amutenderezza okuleka ettoffaali eddene mu kugunjula abavubuka, aweerezzaako mu bifo bingi mu Klezia, awagidde pulojekiti za Klezia nga n’eriko kati eya Yooyoota Lubaga ey’ebijaguzo wadde abadde mugonvu naye yawaayo obukadde 100 okugiddaabiriza.
Namwandu Margaret Kyabaggu yatenderezza bba okubeera omusajja omukozi ate ayagala eddiini ye. Akulizza abaana mu ddiini n’okwagala okukola n’ategeeza nti, ebbanga ly’amaze nga mulwadde era abadde omutima gwe guyaayaanira okukola, era yatuuka n’okusaba Katonda amwongereyo emyaka 10 mu maaso asobole okumaliriza by’ayagala okukola wadde nga tekisobose.
Dr. Peter Kyabaggu, ku lwa bamulekwa yatenderezza kitaawe olw’okubayigiriza okukola n’ategeeza nti, wadde Mukama amuyise naye akimanyi agenze musanyufu era n’asuubiza okwongera ku ebyo kitaabwe by’alese.
Mmisa yeetabiddwaako abantu ab’enjawulo okwabadde; Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinya Agnes Nabaloga, Nnaalinya Sarah Kagere ne bba Bbaale Mugera, Bakatikikiro ba Buganda abaawummula okuli; Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere, John Baptist Walusimbi, n’abalala okwabadde eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Gerald Ssendawula, Gen. Elly Kayanja, Cotilda Nakate Kikomeko minisita e Mengo, Robert Ssebunya omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda, mikwano gy’omugenzi okuva e China, Buyindi n’awalala.
Omugenzi waakuziikibwa ku Lwokutaano e Kannabulemu mu disitulikiti y’e Kyotera.