PREMIUM
Amawulire

ABANTU basatu batuusiddwako ebisago eby'amaanyi mu kabenje akagudde e Njeru ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja

By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU basatu batuusiddwako ebisago eby'amaanyi mu kabenje akagudde e Njeru ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja

Kidiridde FUSO nnamba UBK 622 C ebadde eva e Kampala okudda e Jinja ng'etisse Biogas bw'eremeredde dereeva waayo n'ekoona emmotoka endala okuli Coaster namba UAG 221 P n'endala kamunye nnamba UBB 059 N nga zombi zibadde zoolekera Kampala.

Emmotoka zino zombi, zigudde mu mwala era abamu ku bazibaddemu okuli Doreen Misanya 28 ow'e Seeta Mukono ng'abadde mu takisi, Stephen Sewankambo 46 nga w'e Nateete naye mu takisi n'omuntu omulala atannamanyika bimukwatako ng'abadde mu FUSO ne balumizibwa nnyo.

Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa, Hellen Butoto, agambye nti , abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro e Jinja, ng'okuyigga dereeva wa FUSO agambibwa okuvaako akabenje , kugenda mu maaso.

Tags: