PREMIUM
Amawulire

MINISITA wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda awadde abakazi n’abakadde b’omu Kampala ebintu eby’enjawulo okubayambako okwekulaakulanya.

MINISITA wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda awadde abakazi n’abakadde b’omu Kampala ebintu eby’enjawulo okubayambako okwekulaakulanya.

bavudHajjati Minsa Kabanda ng’ali n’abakadde abaaweereddwa ebintu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda awadde abakazi n’abakadde b’omu Kampala ebintu eby’enjawulo okubayambako okwekulaakulanya.
Eggulo Kabanda yasisinkanye abakadde ne bamutegeeza okusoomoozebwa kwe basanga omuli endwadde ezibatawaanya ng’oluusi tebalina busobozi kwejjanjaba.
Yabasisinkanye ku ssomero lya Nakivubo Blue P/S n’abagabira ebintu omwabadde ssukaali, omuceere, amata n’ebyokunywa eby’enjawulo bye yabasakidde okuva mu kibiina kya Leela Foundation ekiri wansi wa kkampuni ya TIRUPATI.
Hajji Juma Bossa ne Kasimu Lubowa ku lw’abakadde, baayanjulidde minisita nti, waliwo abatalina byakulya, abamu basula bubi ate tebakyakola kwe kusaba gavumenti ebalowoozeeko.
Minisita yasoose kusisinkana abakyala abalunzi n’abagabira enkoko ng’ensisinkano yabadde ku ssomero lya Bat Valley.
Minisita Kabanda yabasiimye okuwagira Gavumenti ne bagikaddiyiramu era n’abasuubiza nti, agenda kubayambako. Yabalagidde nti, abalina obulwadde obw’enjawulo bagende babakebere era babajjanjabe ku ddwaaliro lye erya Dr’s Clinic mu Kisenyi ku bwereere

Tags: