KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde gavumenti eyawakati okukozesa ssente ezinaava mu mafuta okutumbula obutonde bwensi, ebyenjigiriza, eby’obulamu ate n’okutereeza entambula.
Kino Mayiga agambye nti kino kyakuyamba obuteetamisa bannansi okuyikuulwa kw’ekyobugagga kino eky’amafuta nga bwekiri mu mawanga mangi, abantu gyebagalaba okusimibwa kw’amafuta ng’ekikolimo.
Minisita Nankabirwa ng'ayogera
Okwogera bino yasinzidde Bulange-Mmengo ku mukolo, Obwakabaka bwa Buganda kwebwakoledde endagaano ne Kkampuni ezimba omuddumu gw’amafuta eya East African Crude Oil Pipeline (EACOP) okukola Pulojekiti bbiri okuli okusimba ekibira kya Kabaka wamu n’ekisaawe ky’Omupiira byonna nga bigenda kubeera mu ssaza ly’e Buddu.
“Kyetulina okukola, kwe kuba ab’obuvunanyizibwa eby’obugagga eby’omuttaka naddala nga tusosowaza okukuuma obutonde bwensi era mu nsi nnyingi gyebatasosowaza kukuuma butonde bwensi, abantu n’ebyobugagga bibatama. Nga tutunulira emirimu egyetaaga okusosowazibwa mu ssente zetuggya mu ky’obugagga ekyo,” Mayiga bweyagambye.
Yayongeddeko nti “Wano mu mafuta tulowooza okukuuma obutonde bwensi, ebyenjigiriza, eby’obulamu, okuwagira emirimu egiyimirizaawo abantu naye nze wano nsosowaza bulimi kuba abantu 70 ku 100 balimi, okuzimba enguudo, eggaali y’omukka.”
Omukungu we Mengo Sserwanga ng'ayogera
Omudumu gw’amafuta guyita mu disitulikiti 10 n’eggombolola 25 kyokka nga disitulikiti musanvu zisangibwa mu Bwakabaka bwa Buganda, ebyalo 130 mu massaza ana okuli Gomba, Ssingo, Buweekula, Mawogola ne Buddu.
Mayiga yalaze obukulu bw’okuyiikula eby’obugagga by’omuttaka byeyambisibwe okutumbula enkulakulana ng’obutakikola kubeeranga okubeera n’ekitone notakikozesa. Yagaseeko nti Katonda yawa Uganda amafuta nga kirungi okugasima kubanga abeera ajja kubanyigira olw’obutagasima ate abantu ne bafa obwavu.
Okusimibwa kw’amafuta kuleseewo emikisa mingi okuli emirimu ate n’akatale okuva kwaabo abalina byebatunda olwo abantu nebakubirizibwa okulembeka beyolere ku nsimbi.
“Emikisa gizze olw’amafuta. Omukisa gutambula mu kasirise, tegwogera naye gubeerawo naye olina okuba ng’amaaso otunula, amatu gawulira nga n’ennyindo ziwunyiriza. Kati ani agenda okulimira bano emmere, mulunze, amaggi, amata gebagenda okunywa banagaggyawa. Emikisa wegiri, mugyeyambise,” Mayiga bweyasabye.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’amasanyalaze n’ebyobugagga eby’omuttaka mu Uganda, Ruth Nankabirwa ng’ali wamu n’akulira EACOP, Guillaume Dulout saako abakungu ba Petroleum Authority of Uganda.
Katikkiro Mayiga ng'ali n'abakungu okuva mu Gavumenti eyawakati
Nankabirwa yeebazizza Kabaka wa Buganda olw’okussa essira ku kutumbula obutonde bwensi bwagambye nti kikulu nnyo mu kuwa emmere,eddaggala n’ategeeza nga gavumenti eyawakati bweeri enneeteefuteefu okuwagira enteekateeka zino.
Minisita wa Bulungibwansi,amazzi n’Obutonde, Hajjat Mariam Mayanja ataddeko omukono ku lwa Pulojekiti y’ekibira kya Kabaka, ate Minisita w’ebyemizannyo mu Buganda, Robert Sserwanga n’ateekako omuko ku lwa Pulojekiti y’ekisaawe ky’e Buddu olwo akulira kkampuni ya EACOP, Guillaume Dulout n’ateekako omukono.
Minisita Sserwanga yategeezezza nga buno bwebuli obuwanguzi obwamaanyi mu nteekateeka y’Obwakabaka gyebulina okuzimba ebisaawe okwetoloola amasaza 18 agakola Buganda.
John Bosco Aboomugisha, Omumyuka w’akulira EACOP, alaze essanyu olw’okukolebwa kw’endagaano gyagambye nti egenda kweyambisibwa okutumbula ebitone mu bavubuka, bebatwala ng’essuubi ly’eggwanga.
Mu nteekateeka eno, Obwakabaka bwawaddeyo ettaka lya yiika 120 okusimbako Ekibira Kya Kabaka ate ne yiika 10 okuzimbako ekisaawe.