PULEZIDENTI Museveni adduukiridde abasuubuzi abatundira mu katale k’oku kkubo e Lukaya ku lw’e Masaka bw’abagabidde ssente basobole okwekulaakulanya.
Abasuubuzi 552 okuli abookya ennyama, gonja n’enkoko, abasiika cipusi n’ebyokulya ebirala buli omu yaweereddwa 100,000/-.
Obuyambi bwa Pulezidenti bwaweereddwaayo omuwi w’amagezi owa Pulezidenti ku nsonga z’abakadde, omumbejja Pauline Nassolo n’omuwi w’amagezi ku nsonga z’abakyala Flora Kabibi.
Nassolo yategeezezza abasuubuzi nga Pulezidenti bw’abaagala ennyo kye yavudde abaweereza ssente. Yagambye nti bwe baagenda mu butale obwo baabategeeza nga bwe bataganyulwangako mu nteekateeka za Gavumenti okuli; PDM n’Emyooga.
Amawulire bwe baagazzaayo ewa Pulezidenti kye yava yabasindikidde obuyambi obwo n’abasaba okwenyigira mu nteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya.
Kibibi yasabye abasuubuzi okwewala okugattika ebyobufuzi mu nkulaakulana kuba kyekijja okubayamba okutumbula embeera zaabwe.
Ssentebe w’abasuubuzi ba Lukaya Road Toll Market, Sylvia Zalwango yasiimye Pulezidenti n’agamba nti ke bakitegedde nti abalowoozaako nabo bajja kwongera okumuwagira.
Joyce Nantumbwe atunda gonja yagambye nti ssente zijjidde mu kaseera nga takyalina kapito n’agamba nti k’ayiiseemu 100,000/- agenda kwongera okuyiriba.
Ssentebe w’abasuubuzi ba Lukaya Highway Market, Godfrey Kakooza yatenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuleeta enkola ez’enjawulo eziruubirira okuggya abantu mu bwavu babeeko ne ssente mu nsawo