Ebya Eddie Mutwe ne banne bijulidde

KKOOTI Enkulu e Masaka etandise okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa okw’abakuumi ba Bobi Wine, omulamuzi n’ategeeza nti waakusalawo ekyenkolemerdde nga August 22, 2025.

Eddie Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe mu kaguli ka kkooti e Masaka. Ku kkono ye maama we, ate ku ddyo y’omu ku bannamateeka be, Samuel Muyizzi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKOOTI Enkulu e Masaka etandise okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa okw’abakuumi ba Bobi Wine, omulamuzi n’ategeeza nti waakusalawo ekyenkolemerdde nga August 22, 2025.
Eggulo abawawaabirwa okuli; Eddie Sebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, Gaddafi Mugumya, Achilleo Kivumbi ne Grace Wakabi baaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka, Fatuma Nanziri okuwulira okusaba kwabwe okweyimirirwa.
Abakulembeza ba NUP okwabadde akulira oludda oluwabula Gavumenti, Joel Senyonyi, ssaabawandiisi w’ekibiina Lewis Rubongoya ne ssaabakunzi Fred Nyanzi be bamu ku baabaddewo.
Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwa Samuel Muyizzi, Erias Nalukoola n’abalala baaleese abantu ab’enjawulo okweyimirira abawawaabirwa nga kuno kwabaddeko ababaka ba Palamenti, Joseph Ssewungu (Kalungu West), Allan Mayanja (Nakaseke) , Francis Zaake ( Mityana munisipaali) , Ronald Evan Kanyike (Bukoto East), Gorreth Namugga (Mawogola) ne John Paul Mpalanyi (Kyotera) kyokka nga bonna ebbaluwa ezibanjula zaabadde za bitundu gye babeera mu kifo kya gye bakiikirira.
Bannamateeka baalabye embeera eri bwetyo ne basalawo okubasikiza abalala okwabadde ne maama wa Eddie Mutwe, Jane Nantumbwe wabula yagobeddwa olw’obutaba na densite.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Brian Kanaabo lwategeezezza Kkooti ereme kwesigama ku bbaluwa ezaaleeteddwa nti kuba abamu ku babaka nga Ssewungu ne Mayanja baalemereddwa okwogera ebyalo gye basula.
Oludda oluwaabi era lwategeezezza nti ebirayiro ebyakubwa abasibe okweyimirirwa byakolebwa Kampala mu kifo ky’ekkomera e Masaka gye bakuumirwa.
Kanaabi era yategeezezza kkooti nti engeri okunoonyereza bwe kwaggwa baagala batandike okuwulira emisango nti kuba ssinga bayimbulwa banditaataaganya abajulizi n’okubatiisatiisa wabula nga kino bannamateeka baakiwakanyiza. Omulamuzi Nanziri yeewunyizza bannamateeka okulemwa okutuukiriza ebisaanyizo n’anenya ababaka okuleeta ebiwandiiko by’ebitundu gye bakiikirira n’okuleeta emikwano okweyimirira abasibe mu kifo ky’abooluganda.