POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka 9 abagambibwa okuwaayo ebiwandiiko ebijingirire okuyingira eggye lya UPDF.
Bino byabadde ku kitebe kya disitulikiti e Luweero abavubuka 5 okuva e Nakasongola n’abalala 4 okuva e Nakaseke bwe baakwatiddwa.
Bano be bamu ku baasaba okuyingira eggye lya UPDF nga baabadde bali mu kusunsulwa.
Omwogezi w’ekibinja ekisooka Maj. Charles Kabona yategeezezza nti abakwate baabadde n’ebiwandiiko by’obuyigirize bwa P7 ne S4 nga bijingirire ne babakwasa poliisi.
Maj. Kabona yategeezezza nti abali mu kusunsulibwa beebo abaasaba nga baabadde beetegereza ebiwandiiko byabwe ebyobuyigirize, densite, obufaananyi, ebbaluwa ezibasemba n’ebirala.