Kitende 9-1 EPM Mpanda (Burundi)Bukedea 2-1 Kitende
Buddo 1-0 Amus college
Netball
St. Mary’s Kitende (UGA) 39-34 Oyugi (KE)
St. Noa Girls (UGA) 50-33 St.Joseph Girls (KE)
Hamdan Islamic (UGA) 57-31 Vwawa SS (TZ)
Buddo SS (UGA) 59-31 Bukokhole SS (KE)
Ensero 5x5 Balenzi
Seeta High 24-41 Dr Aggrey (KE)
Lukenya Boys (KE) 54-49 St. Cyprian HS (UGA)
Bawala
St. Mary’s Kitende 66-49 Nabisunsa
St. Noa Girls (UGA) 68-55 Kayatiwi (KE)
Handball (Balenzi)
Kamito (KE) 28-28 Mbogo Mixed SS (UGA)
Bombo Army (UGA) 30-23 Kimondo (TZ)
Kimilili HS (KE) 28-25 Wampewo Ntake (UGA)
Gombe SS (UGA) 23-29 Manyatta SS (KE)
Bawala
St. Joseph (KE) 33-25 Kibuli (UGA)
Dagoretti (KE) 20-35 Kawanda (UGA)
Mbogo High (UGA) 32-27 Kadika Girls (KE)
Maweni SS (TZ) 19-46 Gombe SS (UGA)
Enkya
Mupiira
Amus College (UGA) - Kizuka secondary (TZ)
St. Mary’s Kitende (UGA) - Benjamin Mkapa (TZ)
Buddo SS (UGA) - CGFK Kicukiro (RWA)
Bukedea (UGA) - APE Rugunga (RWA)
St. Mary’s Kitende ezze engulu oluvannyuma lw'okutimpula EPM Mpanda eya Burundi goolo 9-1 mu mupiira gwayo ogwokubiri mu kibinja ekyokubiri.
Kitende yakubiddwa Bukedea comprehensive goolo 2-1 mu mupiira ogwaggulawo nga baayingidde omupiira ogw'okubiri ne kigendererwa ekyokwesasuza etangaaze emikisa gyayo egyokuva mu kibinja.
Muyizzi tasubwa Dennis Kisiriko Yateebye goolo ssatu mu dakiika eya 13, eya 22 nedakiika eya 30 ekitundu ekisooka nekiwummula nga Kitende ekikulembedde goolo 6-0.
Goolo za kitende endala zaateebeddwa Collins Ocata Arafat Nkoola eyateebye ebbiri.
Nga ekitundu ekyokubiri kyakaddamu Nkoola yateebye goolo ye eyokusatu mu dakiika eyokuna okwazze eza Frank ssekanjako ne Leonard Kasaanya abazze mu kitundu ekyokubiri.

Abazannyi ba Kitende nga basanyuka oluvannyuma lw'okuteeba ggoolo
Amyuka omutendesi wa Kitende Joachim Mukungu obuwanguzi buno yabutadde ku kwewaayo okuva eri abazanyi be oluvannyuma lwokukubwa omupiira ogwaggulawo.
Bbo bannantameggwa bomupiira aba Amus baatandise bubi nga baakubiddwa Buddo goolo 1-0 mu mupiira ogwajjumbiddwa abawagizi ku kisaawe Kya Rehabilitation Center e kakamega.
Mu muzannyo gwokubaka Uganda yeerisizza nkuuli mu mizannyo egyagguddewo nga bannantameggwa aba Kitende baatandise nabuwanguzi oluvannyuma lwokukuba Oyugi Ogang eya Kenya 39-34.
Abalala abaazanye St. Noa Girls yakubye St. Joseph girls eya Kenya 50-33 ate nga yo Hamdan Islamic yakubye Vwawa SS (TZ) 57-31.

Abazannyi ba Kitende nga battunka ne Burundi
Seeta High School erya minisita webyenjigiriza Muyingo baatandise bubi mu muzannyo gwensero owa 5x5 mu balenzi nga baakubiddwa Dr Aggrey eya Kenya 41-24.
Emizannyo giddamu olwa leero nga mu mupiira mu kibinja ekisooka Amus College ezanya Kizuka eya Tanzania ate Buddo ezanya Kicukiro eya Rwanda.
Mu kibinja ekyokubiri Bukedea Comprehensive eyakubye Kitende mugwaguddewo ezanya Rugunga eya Rwanda ate nga kitende ekomawo mu nsiike bwenaaba ettunka ne Benjamin Mkapa eya Tanzania.