EYALI omuduumizi wa poliisi ow’ebikwekweto, Nixon Agasirwe yeemulugunyizza olw’okumukuumira mu kkomera ne balemwa okumusindika mu kkooti enkulu yeewozeeko.
Nixon n’eyali omukambwe wa Flying Squad Abdulnoor Ssemujju amanyiddwa nga Minaana babadde baleeteddwa mu kkooti ento e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Daphine Ayebare okumanya oludda oluwaabi werutuuse ku kunoonyereza ku musango gw’okutta eyali omumyuka wa Ssaabawaabi wa gavumenti Joan Namazzi Kagezi.
Kyokka olutuuse mu kkooti omuwaabi wa gavumenti, Doreen Elima n’asaba okubongerayo ku budde basobole okumaliriza mu bwangu okunoonyereza kwabwe.
Wano munnamateeka wa Nixon, Micheal Akampulira yataddeyo okwemulugunya kwe n’agamba nti Nixon yakwatibwa nga May, 21, 2025 n’asooka asibibwa ku kitebe kya Flying Squad e Kireka nga yamalayo wiiki 2, oluvannyuma yatwalibwa ku kitebe kya JAT e Mbuya ng’eno nayo yamalayo wiiki 2.
Oluvannyuma lw’omwezi mulamba yasimbibwa mu kkooti e Nakawa n’aggulwako omusango gw’okutta Kagezi naye kati giweze mirundi gwa 3 nga buli lw’aleetebwa mu kkooti nga bagamba okunoonyereza tekunnaba kumalirizibwa.
Omuwaabi wa gavumenti, Doreen Elima yamugambye nti abawawaabirwa balina okukimanya nti omusango gwaliko gwa butemu ng’alina okuweza ennaku 180 alyoke asabe okweyimirirwa.
Yagasseeko nti, bw’aba n’okwemulugunya kwonna alina kukutwala mu kkooti enkulu kubanga kkooti eno terina buyinza kuwulira kwemulugunya kuno era kwetaaga kugobebwa.
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga September 2, 2025, abawawaabirwa ne bazzibwa mu kkomera