OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF era ssentebe w’ekisinde kya PLU, Gen. Muhoozi Kainerugaba agobye Michael Katungi Mpeirwe ku kifo ky’avunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala.
Mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa X (eyali twitter), Muhoozi yagobye Katungi ne ku kifo ky’abaddeko nga mmemba n’agamba tewakyali muntu mulala atali ye ssentebe akkirizibwa kulonda bukiiko bw’amawanga g’ebweru obw’ekisinde kya PLU. Omumyuka wa ssentebe w’ekisinde kya PLU atwala Buganda, Frank Gashumba yakakasizza okugobwa kwa Katungi n’agamba nti kwakoleddwa ssentebe waabwe ng’akozesa obuyinza bwe.
Katungi okugobwa kiddiridde omuwaabi w’emisango gya Gavumenti ya America mu kibuga Alexandria mu ssaza ly’e Virginia okufulumya ekiwandiiko ekyalaze nti bamunoonya olw’okwenyigira mu ddiiru z’okukukusa n’okutunda enjaga n’emmundu.
Bamuvunaana ne Munnakenya Elisha Odiambo Asumo, Subiro Osmund Mwapinga munnansi wa Tanzania ne Peter Dimitrov Mirchev owa Bulgaria.
Ddiiru gye baabadde baluse ebalirirwamu obukadde bwa doola 58 (mu za Uganda 214,600,000,000) ng’erimu okuguza ebyokulwanyisa abakambwe b’akabinja ka Cartel de Jalisco Nueva Generacion (CJNG) abamanyiddwa nti bayaga abaalangirirwa edda mu lubu lw’abatujju