BANNAKIBIINa kya NUP baddukiddde etaputa Ssemateeka nga baagala esazeemu ennongoosereza eyakolebwa mu tteeka lya UPDF eryayisibwa Palamenti mwe bakkiririza okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.
Baakulembeddwa ssaabaawandiisi Lewis Rubongoya n’akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi n’abo abaali batwaliddwaako mu kkooti y’amagye okuli; Olivier Lutaaya ne Christopher Rugumayo nga bali ne bannamateeka okuli; George Musisi, Shamim Malende ne Elias Luyimbazi Nalukoola.
Mu musango guno, bawawaabidde; abaakulemberamu okuyisa ennongosereza mu tteeka lino okuli; Sipiika Anita Among, Ssaabawolereza wa Gavumenti ne minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth.
Mu okwemulugunya kwabwe, essira balitadde ku buwaayiro okuli aka 192 nti buyisa olugaayu mu nsala ya kkooti ensukkulumu eyimiriza okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.
Mu ngeri y’emu bawakanya engeri olukiiko olufuga kkooti eno gye lulondebwamu nti lukontana n’ebyo ebyali mu nsala ya kkooti ensukkulumu mu musango ogwawaabwa eyali omubaka wa Nakawa, Micheal Kabaziguruka.
Bawakanya n’engeri sipiika gye yakubirizaamu Palamenti mu kukola ennongoosereza zino nti tewaali bwenkanya na bulambulukufu.
Rubongoya yagambye nti nga bo abali mu bibiina byobufuzi ebikwatibwako, tebaaweebwa mwagaanya kuwa ndowooza zaabwe ng’ebbaluwa ebayita baagibawa obudde buyise nti beetagibwa mu bwangu nga tebasobola kukola lipooti.
Bawakanya n’akakiiko k’ebyamateeka n’ak’ebyokwerinda okukkiriza Palamenti okuyisa ennongoosereza zino nga Sipiika yali akimanyi nti likontana n’ensala eyali eweereddwa kkooti ensukkulumu.
Ssenyonyi yagambye nti bwe baali bayisa ennongoosereza zino, omuwendo ogw’essalira ogw’ababaka okuyisa etteeka lino tegwawera era tebakkiriziganya.
Bagamba nti etteeka lino lyayisibwa nga May 20, 2025 oluvannyuma lw’ennaku 7 nga lisomeddwa olunaku olusooka era oluvannyuma Pulezidenti Museveni n’alissaako omukono