OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba aweze nga poliisi bw’egenda okufuba okulaba ng’okulonda kubeera kwa mirembe n’alabula abaagala okukola effujjo n’okukugootaanya nti baakukolebwako.
Yabadde ku mukolo gw’okufulumya abaserikale 41 abaabadde mu kutendekebwa emyezi 11 mu ttendekero lya poliisi erya Police Senior Command and Staff College e Bwebajja. Byakagaba yagambye nti poliisi amaanyi egenda kugassa mu kulaba ng’okulonda okubindabinda kubeera kwa mirembe era abaserikale baweereddwa ebiragiro n’engeri gye balina okukolamu emirimu mu biseera ebyo.
“Poliisi nneetegefu okulaba ng’okulonda kubeera kwa mirembe era abasuubira okuleetawo obutali butembenkevu mu kalulu baakukolwako kuba abaserikale beetegese okubahhanga” Byakagaba bwe yategeezezza.
Yagambye nti ebintu ebirala poliisi by’egenda okukola by’ebyetaago by’abaserikale omuli ebyensula,ebyobulamu, yunifoomu enzijuvu n’okukola ku ky’okubongeza emisaala kuba abamu babadde baakabongeza naddala ab’amadaala aga wansi.
Yategeezezza nti era poliisi etunuulidde okulaba ng’efuna kkamera
z’oku nguudo endala ku mutendera ogwokusatu ziteekebwe mu bitundu gye zitali okuketta n’okulondoola ebigenda mu maaso, ebyentambula n’okunoonyereza nga beeyambisa tekinologiya ow’ekigugu.
Ku mukolo guno, eyali akulira akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Dr BadruKiggundu yategeezezza nti waakuwandiika ekitabo ku bbanga lye yamala mu ofiisi.
Minisita Omubeezi w’ensonga z’omunda mu ggwanga. Gen. David Muhoozi yagumizza abaserikale ng’ensonga y’okubongeza emisaala bw’ekwatiddwaako