MUNNABYABUFUZI ow’erinnya Rhoda Nakibuuka Kalema Nsibirwa, omu ku bakyala abaasooka mu Palamenti ya Uganda era eyalwana ennyo okuzzaawo Obwakabaka afudde n’aleka omukululo mu by’obufuzi n’okusitula embeera z’abakazi.
Rhoda Kalema, yafiiridde ku myaka 96 mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital e Kenya mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Ssande. Muky. Kalema yafudde endwadde ezijja n’obukadde, era yasemba okulabwako mu lujjudde ku wiikendi, mu lukuhhaana lw’ekibiina kya Scripture Union, ekitendeka abantu okusoma ekitabo ekitukuvu Bayibuli nga lwali mu disitulikiti y’e Kiboga.
AYINGIRA EBYOBUFUZI
Mu 1961, nga Uganda yeetegekera okufuna obwetwaze okuva ku Bungereza, Bannabyabufuzi ba UPC okuli Grace Ibingira ne Adoko Nekyon baakuyega Rhoda Kalema ne bamuyingiza UPC. Mu 1972, nga Idi Amin awambye obuyinza ku Obote, William Kalema eyali omwami wa Rhoda Kalema yawanbibwa n’abuzibwawo era n’attibwa, nga bwe kyali ku bantu ab’enkizo abaali mu ggwanga mu kiseera ekyo.
Oluvannyuma lwa gavumenti ya Amin okugobwa, Rhoda Kalema y’omu ku bakiise abaali mu lukiiko lwa National Consultative Council olwali lukola nga Palamenti. Mu gavumenti ya Godfrey Binaisa, yaliko Minisita omubeezi ow’ebyobuwangwa n’enkulaakulana y’abantu.
Rhoda ng'ali n'omumyuka wa Speaker Thomas Tayebwa
RHODA KALEMA Y’ANI?
lRhoda Kalema yazaalibwa ngaMay 10, 1929, nga y’omu ku baana 24, aba Martin Luther Nsibirwa, eyaliko Katikkiro wa Bugandaemirundi ebiri. Nsibirwa yasookakubeera Katikkiro wa Buganda wakati wa 1929 – 1941, aten’addamu n’alondebwa mu 1945,nga gwe mwaka mwe baamuttira. Yakubwa masasi bwe yali avamu kkanisa e Namirembe.
lRhoda Kalema yasomerako kuGayaza Junior School omwakamulamba, gye yava ne yeegattaku Budo, gye yamalira Pulayimalene siniya. Yakolako nga akwatassente (Bursar) ku Gayaza HighSchool ppaka mu 1949.
lMu 1950, yafumbiriganwane William Kalema, eyali omusomesa ku King’s College Budogye yava oluvannyuma n’afuukamunnabyabufuzi ow’amaanyi,era Minisita w’ebyenfuna mugavumenti ya Obote eyasooka.
lMu 1955 yagenda e Bungerezan’asoma eby’embeera z’abantumu ttendekero lya NewbattleAbbey, n’agattako dipuloomamu nkwatagana y’ensi n’abantuabagibeeramu (Social Studies)mu yunivasite y’e Edinburgh.