Poliisi ekutte Faaza agiyambeko mu kubuuliriza ku ttemu ly'omuvubuka agambibwa okubba ssente mu kisenge kye

Rev. Father Silver Osuna Owori 33 akwatiddwa ku bigambibwa nti aliko abalala be yeekobanye nabo  ne batta Joseph Kirya 14, omutuuze w'e Wesunire mu Makanga Ward e Buyende, nga bamulumiriza okubba obukadde 5.

Poliisi ekutte Faaza agiyambeko mu kubuuliriza ku ttemu ly'omuvubuka agambibwa okubba ssente mu kisenge kye
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Faaza #Poliisi #Ttemu #Bavubuka #Kubuuliriza #Kigambibwa

POLIISI y'e Buyende akutte omukulu w'ekigo kya Wesunire parish, ayambeko mu kubuuliriza  ku kuttibwa kw'omuvubuka ow'emyaka 14 nga bamuteebereza okubba.

Rev. Father Silver Osuna Owori 33 akwatiddwa ku bigambibwa nti aliko abalala be yeekobanye nabo  ne batta Joseph Kirya 14, omutuuze w'e Wesunire mu Makanga Ward e Buyende, nga bamulumiriza okubba obukadde 5.

Michael Kasadha ng'annyonnyola.

Michael Kasadha ng'annyonnyola.

Kigambibwa nti Rev. Father Owori, yabadde n'abantu abalala okuli Robert Gabula ddereeva nti olwakutte omwana ono ne bamukuba nti n'oluvannyuma ne bamusibira mu sitoowa y'Eklezia gye yamaze ekiro kiramba.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, agambye nti kigambibwa ssente omwana yazibbye kuva mu kisenge kya Faaza.

Agasseeko nti enkeera baaloopye omusango gw'obubbi era ne bayita poliisi ekime omusibe okuva mu sitoowa nti kyokka baasanze mulambo nga Rev. Father ne banne babuzeewo kyokka oluvannyuma ne babakwata.