KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagambye nti, amawulire g'okufa kwa Muky. Rhoda Kalema, muwala wa Katikkiro Martin Luther Nsibirwa, gaamunnyogozza n’Obuganda bwonna kuba abadde awa ekifaananyi ekituufu ku mbeera z'omukyala ow'ettutumu era munnabyabufuzi.
"Tunaamujjukiranga olw'okukuza abaana n'okukuuma amaka okuva 1972 bba, William Kalema, lwe yatemulwa mu biseera bya Idi Amin,” Mayiga bwe yagambye.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Robert Waggwa Nsibirwa, yabise omugenzi Rhoda Nakibuuka Kalema n’alaga nti, eggwanga lifiiriddwa omuntu abadde empagi eyeegombebwa buli muntu naddala mu kuba n’omutima ogulumirirwa eggwanga lye n’abantu bonna.
Sipiika wa Palamenti, Annet Among: Yasaasidde ffamire y’omugenzi, Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Museveni n'Obuganda okufiirwa omu ku bakyala abaakola ennyo okusitula n’okwagazisa abakyala okuyingira ebyobufuzi n’obukulembeze obulungi ate ne bakolerera nnyo eggwanga okulituusa kati weriri.
Omumyuuka wa sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa: Yagambye nti, okufa kwa Rhoda Kalema Nakibuuka mawulire mabi eri eggwanga olw’engeri gye yakolerera okusitulwa kw’abakyala n’enfuga etambulira ku mateeka.
Lood Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago: Yagambye nti, omugenzi abadde mpagi luwagga eri ebyenjigiriza, ebyobufuzi n’amateeka. “Abakyala nga Rodha Kalema, Joyce Mpanga, Sarah Ntiiro eggwanga libeenyumirizaamu olw’engeri gye balikoledde ennyo naddala mu byobufuzi, enkulaakulana y’abakyala n’ebyenjigiriza era eggwanga lifiiriddwa nnyo”, Lukwago bwe yagambye.
Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda: Yasaasidde eggwanga, Pulezidenti Museveni n’Obuganda okufiirwa omuntu atadde ettoffaali eddene ku demokulase w’eggwanga n’obukulembeze n’okusitulaabakyala okubatuusa ku madaala ag’enjawulo ssaako mu byenjigiriza.
Meeya Salimu Uhuru: Yagambye nti, y’omu ku bakyala abaggulirawo abakyala omulyango gw’okuyingira obukulembeze era yali musaale nnyo mu byenjigiriza.
Farouk Ssewankambo, Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abaasomerako mu Kings College Budo, ekya Old Budonians: Yabikidde bammemba banne n’ategeeza nti, abadde mukulembeze wa njawulo ate omukyala eyakolerera ennyo eggwanga mu byenjigiriza, amateeka n’obukulembeze obusitudde abakyala