Poliisi n’abakulira takisi balangiridde ebikwekweto

POLIISI y’ebidduka ng’eri wamu n’abakulira takisi mu Uganda aba  TOF balangiridde ebikwekweto ku takisi olwaleero ku Mmande Olukung’aana olwabadde olw’ebbugumu lwatuuziddwa mu ppaaka y’e Masaka enkadde u Lwokubiri n’ekigendererwa ky’okumalawo obubenje bwa mmotoka za takisi obubadde buzzemu.

Ssekindi (ataddeko entalabuusi mu maaso) ng’ali n’abalala abeetabye mu lukiiko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI y’ebidduka ng’eri wamu n’abakulira takisi mu Uganda aba  TOF balangiridde ebikwekweto ku takisi olwaleero ku Mmande Olukung’aana olwabadde olw’ebbugumu lwatuuziddwa mu ppaaka y’e Masaka enkadde u Lwokubiri n’ekigendererwa ky’okumalawo obubenje bwa mmotoka za takisi obubadde buzzemu.
Olukiiko luno lwakubiriziddwa ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi ekibiina ekitwala takisi mu ggwanga n’omumyuka we Musitah Mayambala nga bali wamu n’akulira baddereeva e Masaka, Muhammada Nsamba Bijaba n’ow’e Kampala Charles
entongo gattako omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka SP/ Twaha Kasirye.
Ssekindi yategeezezza nti
ng’abakulira takisi mu ggwanga , mu 2024 baavaayo n’enkola gye baatandikira ku luguudo lw’e Masaka nga bamaze okwebuuza ku minisitule y’ebyentambula bwe
baakizuula nti omuntu atakolera ku luguudo kyangu okukola akabenje kubanga tamanyi makoona n’awali ekinnya.
Nga buli luguudo takisi ezikolerako zirina okubeera n’ekikuubo ekizaawula ku ndala. Ab’e Masaka twabawa ekikuubo kya kyenvu ne bbulu nga bibeerako bibiri gattako
okuwandiika nnamba ya mmotoka eno ku nguulu omusaabaz y’asobola okulaba obulungi.
“Bwe twakigezesa twalaba nga kikola bulungi era obubenje ne ukendeera wabula ku ntandikwa y’omwaka guno abamu kuba ddereeva ne basalawo okukivaako
nga kati buli mmotoka eyagala ebadde etandise okukolerako kyokka tugenze okukizuula nga obubenje buzzeemu” Ssekindi bwe yategeezezza.
Musitafah Mayambala yagambye nti baabadde tebayinza
kusirika busirisi nga balaba ekintu kye baatandika ate kidda emabega we kusalawo batuuze baddereeva b’e Masaka mu ppaka y’e Masaka enkadde nga bali wamu ne poliisi
ekizibu bakinogere eddagala.
 Oluvannyuma baddereeva bakkiriziganyizza nti okutandikane Mmande ya wiiki eno nga
August 04, 2025 takisi etakolera ku luguudo lw’e Masaka eneekwatibwako ng’evugirayo abasaabaze bagitwale ku poliisi eri okumpi okuggyako nga wabaddewo okusaba
mu butongole.Ssekindi yagambye nti wadde abamu ku ba ddereeva bagamba nti tetulina tteeka mwe tubavunaanira bakimanye nti buli mmotoka erina “Root Chart” mwerina
okukolera nga kino kirambikiddwa bulungi mu minisitule y’ebyentambula.