OMULIMU gw'okusunsula mu abo abaasaba okuyingira eggye lya UPDF, gutandika nkya mu bitundu byonna eby'eggwanga.
Abaasaba okuyingira amagye baali 78,000 ne bagenda nga basunsulamu ne basigaza 13,500 nga ku bano, beetaagako abantu 11,500.
Wano mu Kampala, okusunsulamu, kwakubeera Kololo mu kisaawe so ng'ate abalala , babasabye okugenda ku disitulikiti zaabwe.
Amyuka omwogezi w'eggye lya UPDF, Maj. Bilal Katamba, abasabye okugenda n'empapula z'obuyigirize bwabwe entuufu awamu n'endagamuntu.
Ayongeddeko nti ab'e Namutumba nabo baakuwandiisibwa nga August 11,2025 e Iganga .