Buddo ewangudde omudaali mu mpaka z'amasomero eziri mu Algeria

Ttiimu ya Buddo eyakiikirira Uganda mu muzannyo gw'omupiira ewangudde omudaali gwekikomo mu mpaka oluvannyuma lw'okukuba Sudan Goolo 3-1 mu gw'okulwanira ekifo ekyokusatu.

Omuzannyi wa Buddo ng'asanyukira Ggoolo
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Ttiimu ya Buddo eyakiikirira Uganda mu muzannyo gw'omupiira ewangudde omudaali gwekikomo mu mpaka oluvannyuma lw'okukuba Sudan Goolo 3-1 mu gw'okulwanira ekifo ekyokusatu.

Buddo yakulembedde omuzannyo mu dakiika eya 20 nga eyita mu muteebi Owen Mukisa nga yabadde ya peneti eyavudde ku kuzanyisa ettima ku Muteebi Babi Abdul Shakur mu ntabwe. 
 
Mu dakiika eya 32 Buddo yafunye ggoolo eyokubiri nga eyita mu muteebi Gideon Jjemba eyakubye ennyanda okuva wabweru wentabwe.
 
Nga waakayita edakiika nnya zokka mu dakiika eya 36 Umar Bashir yakolaganye bulungi ne Owen Mukisa nafunira Buddo goolo eyokusatu.
 
Wabula ekitundu ekyokubiri nga kyakatandika sudan yafunye goolo eyatadde aba Buddo ku bunkenke wabula aba Sudan baasubiddwa emikisa egiwerako neguggwa 3-1.
Guno gwemudaali gwa Uganda ogwokusatu mu mpaka zino nga kuliko egyekikomo ebiri nogwa Feeza gumu.
 
Mu misinde egyakafubutuko musaayi muto Abraham Muhwezi yamalidde mu kifo kyamukaaga mu mbiro eza mmita 200 ezoluzannya oluddirira olwakamalirizo. Muhwezi yaddukidde sikonda 23.95 nga zaawanguddwa Bayo Buba ezaalwa za Gambia.