Pulezident Museveni asuubizza Uganda Cranes 1.2bn buli Match gyebawangula mu mpaka za CHAN

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yeeyamye okuwa akawumbi kamu n’obukadde 200 buli luzannyo tiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes lwenawangula mu mpaka za CHAN ezigenda mu maaso. 

Speaker ng'ali mu lukung'aana lw'abannamawulire ku palamenti
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yeeyamye okuwa akawumbi kamu n’obukadde 200 buli luzannyo tiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes lwenawangula mu mpaka za CHAN ezigenda mu maaso.

Obubaka bwe buleteddwa sipiika wa palamenti Anita  Annet Among mu lukungaana lwa bannamawulire ku palamenti oluvanyuma lw’okusisinkana pulezidenti.

Singa tiimu leero ewangula olusamba lwelina wakati ne Algeria, buli muzannyi wakuvaawo n‘obukadde 30.

Sipiika yebazizza nnyo pulezidenti wamu ne minisita w’eby’emizannyo Kataha Museveni olw’okuwagira ebitono kwosa n’okulaba nga ebisaawe byonna omugenda okubeera empaka biyoyoote bulungi.