SIPIIKA wa Palamenti Anita Among yawerekeddeko bba Ying. Moses Magogo mu kakiiko ka NRM akawozesa emisango egy’okubba obululu mu kamyufu k’ekibiina ekaabaddewo nga July 17, 2025.
Magogo yawawaabirwa Geofrey Dhamuzungu ng’amulumiriza okubba obululu
mu kulonda kw’e Budiope West ng’agamba nti ebifo ebironderwamu 113 byalimu emivuyo, kyokka Magogo eyeeyanjudde mu kakiiko ka bannamateeka ne mukyala we Among eggulo ku Ssande yagambye nti yawangula mu mazima n’ebitundu 78.
Munnamagye Brig Emmaule Rwashande eyawangula Theodore Sekikubo mu kalulu k’e Lwemiyaga naye yalabiseeko mu kakiiko eggulo ne bamubuuza ku bigambibwa nti akalulu kaalimu obubbi obutabangawo.
Sekikubo yagambye nti ayagala akakiiko ka bannamateeka kasale amazima olw’ensonga nti Rwashande yakozesa amagye okumubba obululu kyokka Rwashande yagambye nti akalulu tekaalimu kubba, era nti ne bwe kaddibwamu emirundi kkumi , Sekikubo amumegga.
Minista omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi, Minista omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu, Minista omubeezi ow’obulimi n’ebyamagana, Bright Rwamirama n’abalala bangi bonna baalabiseeko mu kakiiko.
Amangu ddala nga okuwuliriza emisango egyaloopebwa ababaka kufundikidde wajja kuddawo okuwuliriza emisango egy’abakulembeze aba gavumenti ez’ebitundu okuli bassentebe ba disitulikiti, loodi meeya, ab’amagombolola ssaako ne bakansala nga gino gyakutandika okuwulirwa wakati wa August 7 ne 8, 2025.
Akulira bannamateeka mu kibiina kya NRM, Enock Barata yakakasizza nti baayingizza emisango emipya 47 ekyabawalirizza okwongezaayo ku nnaku ez’okuwulirizaako emisango gy’ababaka era baakufundikira ku Lwokubiri nga August 5, 2025.
Abanene abalabikidde ku lukalala lw’emisango emipya egyaloopeddwa bano nga babalumiriza okwenyigira mu kubba obululu kuliko katikkiro Robina Nabbanja eyaloopeddwa omu ku be yavuganya nabo ku kifo ky’omubak omukyala owa disitulikiti y’e Kakumiro Harriet Ssali Tibulihwa, Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Persis
Namuganza ono nga yaloopye omu ku balondesa mu kakiiko ka NRM ak’ebyokulonda Emmanuel Katooko Maganda gw’alumiriza okuvaako emivuyo mu kalulu ka Bukono e Namutumba ekyamuviirideko okuwangulwa ku kifo kino ky’amaze ebbanga nga akiikirira n’abalala.
Barata yategeezezza nti waliwo abantu abamu abaaloopebwa kyokka baaziimudde akakiiko ne bagaana okujja okuwaayo okwewolereza kwabwe yadde okusindika bannamateeka baabwe naye ekyo tekijja kulemesa kakiiko kuwa nsalawo yaako