Bazzukulu ba Bulasio bafunye essuubi ku ttaka eribadde likaayanirwa okumala ermyaka 70

OW’ESSIGA lya Kibeevu Jackson Bbosa Mukasa okuva mu kika ky’e Ndiga ayingidde mu nkaayana z’ettaka z’omutaka Bulasio Kato ow’e Butabika mu Nakawa ezimaze emyaka 70, asuubizza okuwa lipoota yaazo mu wiiki ssatu.

Bazzukulu ba Bulasio bafunye essuubi ku ttaka eribadde likaayanirwa okumala ermyaka 70
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

OW’ESSIGA lya Kibeevu Jackson Bbosa Mukasa okuva mu kika ky’e Ndiga ayingidde mu nkaayana z’ettaka z’omutaka Bulasio Kato ow’e Butabika mu Nakawa ezimaze emyaka 70, asuubizza okuwa lipoota yaazo mu wiiki ssatu.

Okukyalira oluggya lwa Bulasia Kato Ssentumbwe, kyaddiridde abazzukulu b’omugenzi Kato nga bakulembeddwa Peter Bbosa Mukasa okuddukirayo ne bamulaajanira nti wali eyeerimbika mu linnya lye John Bosco Mugga n’akola ogw’okutabangula oluggya ng’ayita mu kuwandiika amabaluwa agatunda emmaali y’omugenzi.

abantu nga bali ku nnyumba emenyeddwa

abantu nga bali ku nnyumba emenyeddwa

Mukasa yategeezezza Kibeevu nti, oluvannyuma lwa Jjaja bwe Bulasio okufa mu 1955, ab’enganda baasalawo okulonda Dodovico Kiyingi ng’omusika okukuuma n’okugatta oluganda.

Ettaka eririko emberebezi lino, lyaali lya mugenzi Kato nga liwezaako yiika nnya e Bbiina Butabika kyokka mu kiseera we yafiira yali yaleka baana bawala bokka mu maka kyokka ng’alina omwana omulala omulenzi gwe yali yazaala ebbali nga ye Gorge Willison Lumu (naye kati mugenzi)       

Newankubadde Bulasio yali azadde abalenzi babiri n’abawala basatu, naye abalenzi kigambibwa nti oluvannyuma battibwa mu biseera by’olutalo mu gy’e 70 nga kiteeberezebwa kuweebwa butwa abamu ku b’oluganda era baabulwako n’amalaalo.

Mukasa Bbosa muzzukulu wa Bulasio era omusika we kati agamba nti, oluvannyuma lwa Dodovico okusika, yasooka n’abeera ne bassenga baabwe mu Mirembe kyokka mu gy’e 80 nga bakitaabwe bonna baweddewo, yatandika okwefuula ng’agamba nti ye kamala byonna.

Az 8

Az 8

Bazzukulu ba Bulasio olwagezangako okusaba Dodovico ebimu ku bintu bya jjaaja bwe ng’abaddamu kimu nti bw’anaabibawa baggya ku bitunda kyokka Mukasa agamba yennyini Dodovico ate ye yatandika okubitunda.

Nga Dodovico afudde mu 2021, ate abaana be nabo badda mu bintu bya Bulasio nga bagamba byabwe byali bya kitaabwe kyokka nga naye yali musika ng’akuuma bukuumi kati abaana nabo batunda.

Mukasa yategeezezza nti baagezaako okuwadaawadako ne bakomyawo obusika bwa Jjajja bwe Bulasio era ne bumuweebwa nga ne ku mmaali baali bawaddeko ffuuti 38 zokka awatudde ennyumba y’omugenzi kyokka ate baabeefuulira ne bazitunda ennyumba n’ekoonebwa.

Mukasa yeewunya omuntu akuwadde ekirabo ate okwefuula n’akikujjako kyokka nga nakyo ntuuyo za jjajja we nga baali bateekeddwa okufuna omugabo gwabwe kuba kitaabwe omugenzi Wilison Lumu Yalina okugabana.

Ow’essiga Kibeevu Bbosa oluvannyuma yabaanukudde ng’agamba nti waakutuula n’abakulu b’obusolya abamusinga okutema embenda ku ngeri gye basobola okutaawula enkaayana zino.

Yategeezezza nti waakudda mu wiiki ssatu n’abakulu bano era ku olwo waakujja ne lipoota ku nsonga zino kyokka n’asaba n’oluuyi olwogerwako nalwo okubeerawo nga battaanya.

Yasabye ab’e Ndiga obuteerumaaluma wabula okukolera awamu, yabakuutidde obuteetundako ttaka ssaako okuzaala abaana abatono be basobola okulabirira n’okusomesa.