MINISITA Omubeezi owa Tekinologiya mu gavumenti eyawakati Joyce Nabbosa Ssebuggwawo asabye abazzukkulu mu bika okwenyigira mu nteekateeka z'enkulakulana zebirina bisobole okuva ku ssa mwebiri, okutandika okweyimirizaawo.
Nabbosa agamba nti abazzukkulu bwebatabeerako kyebakola mu busobozi bwabwe, ebika ne Buganda okutwalira awamu tebijja kudda ku ntikko nga bwetuyayana.
Plan y'ekizimbe ky'ekkaddiyizo
Okusaba bwaati asinzidde ku butaka bw'ekika ky'Endiga obusangibwa e Mbaale- Mpigi mu ssaza lye Mawokota ku mukolo gw'okutema Evvunike ly'okutandika Okuzimba ekkadiyizo ly'ebyafaayo by'ekika kino eriyitibwa Kibuuka Omumbaale.
"Ebika birimu ebintu bingi eby'omuwendo nti singa bibeera bikulakulanyiziddwa, bisobola okukulakulanyizibwa. N'olwekyo nsaba buli omu abeeko kyawaayo okuwagira emirimu egikolebwa," Nabbosa bwagamba.
Omutaka Atanasio Kasirye Mbugeramula Kyadondo nga y'akulira ekika ky'envuma, y'abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno n'atendereza abendiga okukulemberamu ebika ebirala okujjukira omulimu omukulu ogwakolebwa Kibuuka Omumbaale mu kugaziya Buganda nabyo bibeereko kyebikola okusasula ebbanja lyeyalekera Obuganda.
Omutaka Lwomwa Lwasi ng'ayogera
Omutaka Kyadondo era asinzidde wano n'akuutira Abaganda okukomya omuze gw'okwetundako ettaka n'okuzaala abaana abawera kubanga Buganda yakuggumira bantu.
Ye Omukulu w'ekika ky'Endiga Omutaka Eria Buzaabo Lwasi Lwomwa ategezezza nga wegunatuukira omwezi gwa novemba 2025, ekizimbe ky'ekaddiyizo bwekinabeera nga kiyimiridde bwatyo n'ayongera okukunga bazzukkulu be buli omu okuwaayo kyalina ku mulimu guno.
Sarah Nannono Kaweesi nga ye Mwami w'essaza ly'e Mawokota akubirizza abantu okuleetanga abaana mu nsonga zino ezikwata ku bika kubanga be balina okudda mu buvunanyizibwa ng'abakulu bavuddewo.
Ronald Kazibwe atwala eby'obusuubuzi n'enkulakulana mu disitulikiti ye Mpigi yeebazizza ab'endiga olw'okutumbula enkulakulana mu kitundu kino gyayogeddeko ng'egenda okukyusa ebintu bingi okuli okwongera obulambuzi, okutondawo emirimu mu bavubuka, okulongoosa enguudo, okuzimbibwa kwa Woteeri n'ebifo ebirala.
Omutaka Kyadondo Kasirye Mbugeramula ng'atema Evvunike ku Lwomukaaga August 2,2025
Omukolo gwetabiddwako Abamasiga, emituba, ennyiririra n'abazzukkulu.
Ab'endiga bano baalina ekijjulo nga July 18,2025 ku wooteeri Africana kwebasondera ensimbi ku mulimu guno
Lwomwa Lwasi agamba nti obukadde 113 zezakasondebwa mu mpeke ku mulimu guno ng'oluvanyuma lw'okuggyako ensasanya eyakola ekijjulo, baasazeewo ezisigaddewo zitandike omulimu guno.