Poliisi eyise Bakaluba n’abanene ku disitulikiti y’e Mukono ku mivuyo gya ssente

Poliisi eragidde Ssentebe wa LC 5 e Mukono n’abakozi ku kitebe kya disitulikiti okweyanjula bakole sitatimenti ku bigambibwa nti beekobaana okukumpanya n’okukwata obubi ensimbi za gavumenti.

Bakaluba ne Odong
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Poliisi eragidde Ssentebe wa LC 5 e Mukono n’abakozi ku kitebe kya disitulikiti okweyanjula bakole sitatimenti ku bigambibwa nti beekobaana okukumpanya n’okukwata obubi ensimbi za gavumenti.
Rev. Peter Bakaluba Mukasa n’omumyuka we Asuman Muhumuza baayitiddwa ku poliisi n’abakulembeze abalala okuli Sipiika Betty Hope Nakasi, nnampala w’abakozi ba gavumenti mu disitulikiti eno Elizabeth Namanda n’abalala. Embeera eno yavudde ku kkansala akiikirira ekitundu ky’e Nama, Samuel Odong eyabagguddeko emisango okuli ogw’okukozesa obubi ofiisi zaabwe n’ogw’okukumpanya ensimbi za gavumenti  n’asaba banoonyerezebweeko.
Yabalumirizza okusaasaanya ensimbi ezisoba mu buwumbi 3 ezitaliiko mbalirira okuli ezo ezaakaweebwa ba kkansala ba disitulikiti bonna okukkiriza okuyisa embalirira ya disitulikiti ebadde ekyalimu kigoye weezinge, olw’ensonga ezimu okuli n’eyebbula ly’akakiiko akagaba emirimu, ensimbi ezisasulwa abakozi ba gavumenti okuli abasawo
n’abasomesa ab’empewo, ezisasulwa ba kkansala abatakiika mu kkanso n’ensimbi endala eziyita mu makubo agatategeerekeka.
Yayongeddeko nti ensimbi nnyingi nnyo ezizze zibulankanyizibwa ku disitulikiti, ekivuddeko empeereza y’emirimu egy’enjawulo ku disitulikiti okuzing’ama. Sipiika Nakasi yategeezezza bw’agenda okweyanjula ku kitebe kya poliisi kyokka n’asambajja eky’obuli bw’enguzi.
Amyuka ssentebe Muhumuza eyeeyanjudde ku poliisi yategeezezza nga ssente ezoogerwaako bwe baagasse entuula za kkanso ebbiri ekibadde kikyaludde okubaawo era nti ensimbi zino zaabaliririddwa nga buli kkansala yazitaddeko omukono. Nampala w’abakozi ba gavumenti mu disitulikiti eno Elizabeth Namanda bwe yatuukiriddwa, ono ng’ayita mu muwandiisi we eyategeerekeseeko erya Tabitha yagambye nga bw’atali mwetegefu kwogera na bamawulire ku nsonga eno.