POLIISI eweze emmotoka ezitambuza abalwadde , okukozesebwa nga zikulemberamu, okutambuza bannabyabufuzi , nga bagenda mu nkungaana zaabwe.
Kigambibwa nti badereeva b'ambulensi , baludde nga bakikozesa ne bassaako n'obugombe, okusobozesa bannabyabufuzi obutakwatibwa jjaamu nga bali ku makubo, poliisi ky'eweze.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ambulensi , ziriwo kutambuza balwadde so si kukola nga mmotoka za poliisi ezikulemberamu abakungu, era n'atiisa okukwata n'okukangavvula ba dereeva baazo.
Mu kusooka, Kituuma ayongedde okukikaatiriza nga bannabyabufuzi bwe babagaana okutambulira mu luseregende, okweyisa obubi n'abawagizi baabwe ku nguudo naddala nga babadde bali mu bidduka