Amawulire

Bannalotale ya Kira batongozza effumbiro ery'omulembe e Jinja

Bannalotale y'e Kira nga bakulembeddwamu 'district governor' waabwe nnamba 9213, batongozza effumbiro ery'omulembe,  n'ekigendererwa ky'okutaasa obutonde bw'ensi saako okutumbula ebyendya n'omutindo gw'eby'ensoma mu baana abasomi.

Bannalotale ya Kira batongozza effumbiro ery'omulembe e Jinja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bannalotale y'e Kira nga bakulembeddwamu 'district governor' waabwe nnamba 9213, batongozza effumbiro ery'omulembe,  n'ekigendererwa ky'okutaasa obutonde bw'ensi saako okutumbula ebyendya n'omutindo gw'eby'ensoma mu baana abasomi.

Lino balintongolezza ku ssomero lya gavumenti mu Jinja City erya Kivubuka Primary School nga bayita mu nkola yaabwe eya 'Rotary eyamba'. Essira balitadde ku  ku kukulaakulanya ebitundu bya Uganda ebyenjawulo abantu baganyulwe nga bwe bakikoze mu ggombolola y'e Ivunamba ku ssomero lya gavumenti erya  Kivubuka P/S  mu Jinja North.

Effumbiro lino lye babawadde, lirina ebyooto eby'omulembe, sitoowa z'emmere nga bano era babawadde amazzi ga ttaapu nga gano gaakuyambako ku kukuuma obuyonjo ttanka y'amazzi  ekikomera n'ebitabo.

Geoffrey Michael Kitakule nga ye District Governor wa Rotary District 9213   yeebazizza bannalotale olw'okuwaayo eri ekitundu kino n'ategeeza nti kino kyakutumbula ebyobulamu n'okuyambako abaana okulya emmere ennungi. Bano baasimbye emiti okwongera okutumbula obutonde bwensi.

Ye pulezidenti wa Rotary club y'e Kira, Engineer James Joloba  ategeezezza nti effumbiro lyakuyamba abaana okufuna ebyokulya mu budde era n'okutaasa obutonde bwensi.

Agambye nti ekitundu kino kirina ebyetaago bingi era n'ayita abantu nga abaasomerako mu masomero g'okukitundu okukwasizaako lotale okuzza ekitundu kyabwe ku ntikko.

Ye ssentebe wa Kivubuka , Lovinsa Kakaire mu ssanyu yeebazizza nnyo bannalotale olw'okubakwasizaako.

Kagoda Steven nga mulambuzi wa masomero mu Jinja City asiimye aba lotale n'ategeeza nti beeyamye okukolera awamu ne lotale y'e Kira okukuuma ebintu ebibaweereddwa.

Meddie Lutaaya nga y'akulira ebyemirimu mu lotale y'e Kira, ayogedde ku biruubirirwa okukolebwa mu myaka etaano era n'asuubiza nti baakuyambako ne ku malwaliro, okusimba emiti, okutandika ebibiina by'okwekulaakulanya mu kitundu kino.

Tags:
Jinja
Jinga City