POLIISI ekakasizza ng'omulambo gwe baazuula mu kitoogo kya Musaala e Namulaba mu Ggombolola y'e Kyampisi e Mukono, bwe gwaali ogw'omwana Merisa Aneza eyali omuyizi wa Naalya SS e Lugazi.
Omulambo gw'omwana ono eyali ow'emyaka 15, gwakwasiddwa bazadde be okuli nnyina Sarah Kamuganga ku Lwomukaaga , okumuziika.
Yabula nga Nov 6 era ng'omusango, gw'okubula, baaguloopa ku poliisi e Wandegeya ng'okunoonyereza kugenda mu maaso kyokka oluvannyuma, ne baguzuula nga guvundidde mu kitoogo ekyo,mu sikaati y'essomero eya Nevy blue nga kuliko erinnya lya Nanyonga 1V.
Oluvannyuma gwatwalibwa mu ddwaaliro e Kayunga ne baguziika mu limbo e Naggala ng'okunoonyereza kukolebwa. Oluvannyuma gwaziikuddwayo ne baguggyako sampo zebaatutte ku DNA n'abazadde, era ne biraga akakwate, era nga ye muwala waabwe eyattibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, ategeezezza nti gwabakwasiddwa okumuziika ng'okunoonyereza , kukolebwa.