Amawulire

Poliisi e Luweero eri mu kuyigga abantu abagambibwa okuteekera ennyumba ya meeya omuliro n'esaanawo

Poliisi e Luweero eri mu kuyigga abantu abagambibwa okuteekera ennyumba ya meeya omuliro n'esaanawo

Poliisi e Luweero eri mu kuyigga abantu abagambibwa okuteekera ennyumba ya meeya omuliro n'esaanawo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Luweero eri mu kuyigga abantu abagambibwa okuteekera ennyumba ya meeya omuliro n'esaanawo. 

Bino, bibadde ku kyalo Wakivule mu Kikyusa town Council e Luweero, abantu abatannamanyika bwe bookezza ennyumba ya Paul Salabwa meeya w'e Kikyusa town Council. 

Salabwa era y'azaala omu ku besimbyewo okuvugunya ku kifo ky'omubaka wa parliament e Bamunaanika, Elizabeth salabwa. 

Kigambibwa nti ennyumba ebadde ekyazimbibwa, oludda  lwayo olumu, lubadde lulumbiddwako enjuki nga kirowoozebwa nti abakozi , bagezezzaako okuzookya omuliro ne gusaasaanira ennyumba yonna n'eggya. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima, agambye nti banoonyereza ku muliro guno n'agattako nti obutakaanya n'enkayana eziri mu family nazo, tebazibuusa maaso mu kubuuliriza

Tags: