FFAMIRE y'abafumbo b'e Ntebe abaatemulwa mu bukambwe emyezi ena egiyise yeekyaye olwa poliisi okulemwa okukwata abatemu, kati kisaliddwaawo emirambo gy'abagenzi gitikkibwe ku nnyonyi gitwalibwe e Bulaaya gye baali ku kyeyo okumala emyaka egisoba mu 30.
Abafumbo David Mutaaga 69 ne mukyala we Florance Mutaaga 62, abaali baakadda mu Uganda okuva e Zurich mu Switzerland omwami gye yalina emirimu emisava mu bbanka ez'enjawulo ze yaweereza okumala emyaka egisoba mu 30, baalumbibwa nga July 6, 2025 mu maka gaabwe e Lugonjo - Nakiwogo ekisangibwa e Ntebe ne batemulwa mu bukambwe.

Amaka g'abagenzi we battibwa.
Ettemu lino lyatiisa bamulekwa; Isabel Naggitta Mutaaga ne Mark Ernest Kabenge Mutaaga ne bagaana okudda mu Uganda okwetaba mu kuziika era baakolagana ne Poliisi ne bassaawo obukadde 50 ez'okuwa omuntu yenna anaayagamba mu kukwata abatemu era baasalawo nti abagenzi si baakuziikibwa okutuusa ng'abatemu ne be baakola nabo olukwe bakwattiddwa.
Abaana balabye emyezi giyiseewo ena ng'abatemu n'abaaluka olukwe lw'okusanyaawo obulamu bw'abagenzi tebakwatibwa ne basalawo abagenzi babazzeeyo e Switzerland gye bamaze emyaka nga bakolera gye baba baziikibwa.
Ensonda mu ffamire ziraga nti abaana batya okudda mu Uganda nga bazze okuziika bazadde baabwe kubanga ebigendererwa by'abatemu tebinnavaayo bulungi, kwe kusalawo emirambo gitikkibwe ku nnyonyi babatwale e Switzerland babakungubagire mu butongole n'okubaziikayo.

Bamutaaga bwe bafaanana.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti waliwo abantu abaakwatibwa ku musango guno kyokka olw'okuba bakyayagala okwongera okugaziya okunoonyereza kwabwe, bambega bakyagenda mu maaso n'okuyigga abatemu.
Abagenzi David Mutaaga ne mukyala we. Yagambye nti ebiseera ebimu okunoonyereza kutwala obudde ku nsonga ezibeerawo era ye akakasa nti buli eyalina akakwate ku ttemu abaserikale baakumuyoola amateeka gamukoleko. Emirambo gy'abagenzi gikuumibwa mu ggwanika lya A-PLUS.