POLIISI mu kitundu kya Busoga North omuli Luuka, Kamuli ne Buyende, erabudde bannabyabufuzi n'abawagizi baabwe okukomya efujjo nga bayita mu nguudo ne mu bifo gye banoonyeza obululu.
Kidiridde abantu bana , e Busota Butabaala abawagizi b'abesimbyewo Abasatu ,okulwanagana era ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi ne batwalibwa mu malwaliro ag'enjawulo gye bali mu kufunira obujanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Micheal Kasadha, ategeezezza nti tebasobola kuguminkiriza bikolwa nga bino, era omuyiggo gw'abali emabega w'ekikolwa kino, gukolebwa okubakwata.
Abasabye okukuuma emirembe , okukozesa olulimi olutavvoola wadde okuvuma era n'awanjagira abasimbyewo okukoma ku bawagizi baabwe.