Abazigu bafumise omukuumi ebiso ebimuttiddewo

ABAZIGU abatannamanyika, bafumbikirizza omukuumi w'ekitongole ky'obwannanyini ne bamufumita ebiso ebimusse emmundu ne bagenda naayo.

Ow'ebyokwerinda nga yeekebejja ebintu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAZIGU abatannamanyika, bafumbikirizza omukuumi w'ekitongole ky'obwannanyini ne bamufumita ebiso ebimusse emmundu ne bagenda naayo.

Kyokka oluvannyuma, emmundu eno ey'ekika kya AK 47 gye baggyeko magaziini , baliko ekifo we bagisudde mu mita nga 800 okuva awabadde ettemu , ne beeyongerayo.

Ebimu ku bissi

Ebimu ku bissi

Attiddwa ye Emmanuel Lomme 21 ng'abadde mukuumi mu kitongole kya Sun Security Group Ltd  era ng'abadde akuuma mu kifo kya Gold ekimanyiddwa nga Amony resource's Gold Crush Mines e Budde - Nabwala mu Town y'e Mayuge mu Bugiri district .

Kigambibwa nti zibadde ssaawa nga Mukaaga ogw'ekiro, abazigu bamulumbye ne bamufumita ebiso mu maaso ne bamuttira mu kayumba mw'abadde atuula ne baleka nga bamusibye amagulu n'emikono.

Kigambibwa nti ono yabadde alina kukuuma ne munne Solomon Emokoli ataabaddewo era nga mu kiseera kino poliisi ekutte abantu Mukaaga.

Sa 8

Sa 8

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East ,Micheal Kafayo agambye nti abakwatiddwa, kuliko omusirikale wa SFC Sgt. Robert Owundo, Wilson Mwanje, Joel Omene, Brain Onyanga,  Arold Wejuli ne Robert Owade Owundo era nga bakuumirwa ku poliisi y'e Bugiri.