Abantu mu Wakiso bali mu kubinuka masejjere ssaako okwenogera ku nnusu nga balindirira Pulezidenti Museveni agenda okusisinkana abakulembeze e Wakiso.
Abantu nga beesunga Pulezidenti Museveni
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
Abantu mu Wakiso bali mu kubinuka masejjere ssaako okwenogera ku nnusu nga balindirira Pulezidenti Museveni agenda okusisinkana abakulembeze e Wakiso.
Abantu nga bessinga President Museveni
Ensisinkano egenda kubeera ku kisaawe kya disitulikiti era abakulembeze ba NRM neba ssentebe ba LCs bagenda okusisinkana munteekateeka ye gyaliko eya PDM mu Wakiso.Bano bategezezza Bukedde nti basanyufu nnyo olw'okukyaza omukulembeze kuba abadde atutte ebbanga nga takyala ku kitebe kua disitulikiti.
Zb 10(1)
Eby'okwerinda bbyo binywevu nnyo nga kumpi buli ayingira asooka kwazibwa era abatali ku lukalala olwaategekeddwa tebakkirizibwa kuyingira ku mukolo