OBWAKABAKA bwa Buganda busabye ekitongole ekivunanyizibwa okubukwatirako mu kaweefube w'okukulakulanya eby'obulambuzi byebulina bituukane n'omutindo gw'ensi yonna.
Akulira emirimu mu kitongole ekivunanyizibwa ku by'obulambuzi ekya Buganda Heritage & Tourism Board, Najib Nsubuga agambye nti singa gavumenti eyawakati enabakwatirako, kijja kubayamba okutumbula eby'obulambuzi
Eby'obulambuzi
Bino abyogedde oluvannyuma lw'okulambuza Akulira ekitongole ky'Obulambuzi mu Uganda Omuggya, Juliana Kaggwa azze Okulambula ebifo by'obulambuzi eby'enkizo mu Buganda okuli Amasiro g'e Kasubi, Bulange, Oluguudo Kabakanjagala, Olubiri e Mmengo ate n'ekitebe ky'ebyobulambuzi mu Buganda e Butikkiro- Mmengo n'ebirala.
“Buganda gwemuggukiriro gwa Uganda, buli muntu yenna ajja mu Uganda asookera mu Buganda n’olwekyo Buganda tulina okugiteekateeka obulungi, esobole okusikkiriza abantu bajje balambule ate bagende okugenda eri mu bitundu ebirala nga bawulira bulungi,” Nsubuga bwagambye.
Ku lulwe, Kaggwa ng'ayise n'abakungu ab'enjawulo mu kitongole ky'ebyobulambuzi mu Uganda yeebazizza Obwakabaka olw'enteekateeka gyebutaddewo okutumbula eby'obulambuzi naddala ebyo ebiraga ennono n'obuwangwa bw'abantu ba Uganda bwatyo n'asuubiza nti bagenda kukola enteekateeka eziyambye okutumbula eby'obulambuzi.
Ab'ebyobulambuzi nga balya ekijjulo
“ Nneebaza Obwakabaka olw’okukuuma ebifo by’obulambuzi bino era ng’ekitongole tugenda kukwatira wamu okulaba nga bikulakulanyizibwa,” Kaggwa bwagambye.
Ku nnyanja ya Kabaka, alaze obwenyamivu olw’embeera mweeri n’ategeeza nti yetaaga okufaayo kwa buli omu akwatibwako mu ggwanga lino, okulaba ng’eteekebwa ku mutindo nga singa kikolebwa, ejja kutumbula eby’obulambuzi.
Ye Claire Nassali Mugabi nga Mmemba ku Lukiiko olufuga eby'ebyobulambuzi mu Buganda yeebazizza Kaggwa olw'okuwa Obwakabaka akadde nga tanagenda mu kitundu kirala bwatyo n'asaba enkolagana enywezebwe.
Olugendo luno olubaddewo nga July 4,2025 lukomekerezeddwa n’okugabula abagenyi ekijjulo omubadde n’empombo n’okunywera mu ndeku.