Abavubka 30 bayooleddwa mu kikwekweto e Makindye

ABAVUBUKA abasoba mu 30, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye okufuuza abakyamu e Makindye mu Kampala.

Abavubuka abaakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAVUBUKA abasoba mu 30, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye okufuuza abakyamu e Makindye mu Kampala.

Ekikwekweto kino, kikoleddwa okumpi ne military barracks , Kinyoro, Mangereza, ku luguudo lw'e Salaama era nga babadde bagenderera kukwata abo , abasikambula amasimu n'obusawo bw'abakyala.

Kidiridde okwemulugunya okuva mu batuuze , olw'obubbi obubadde bweyongedde mu kitundu , kwe kuwanjagira poliisi ebeeko ky'ekola.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti bakutwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo.