PPulezidenti Museveni yeeyamye okubunyisa amasannyalaze mu bitundu bye Kasanje

Pulezidenti Museveni yeeyamye okubunyisa amasannyalaze mu bitundu bye Kasanje gye gatali kiyambeko bizinensi okuyitimuka.

Museveni ng'alambula ebaganyuddwa mu PDM
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

Pulezidenti Museveni yeeyamye okubunyisa amasannyalaze mu bitundu bye Kasanje gye gatali kiyambeko bizinensi okuyitimuka.
Museveni asinzidde ku ffaamu ya Jackline Rwabukurukuru ku kyalo Zziba mu ggombolola ye Kasanje e Wakiso bwabadde alambuzibwa ebikoleddwa.

Pulezidenti Museveni ng'alabula ebikoleddwa mu ssente za PDM

Pulezidenti Museveni ng'alabula ebikoleddwa mu ssente za PDM


Ategeezezza nti agenda kubunyisa amasannyalaze abantu abakola pulojekiti ezigatta ku ggwanga basobole okufunamu ennyo mu bye bakola.
Ayongedde nakkatiriza ng'oluguudo lwa Nakawuka oluludde nga luliko enfuufu nga bwelugenda okuyiibwa kkolaasi nga luno lwakumala emyezi 18.
Yebazizza nnyo abantu abagasse omutindo ku bye bakola nagamba nti gwegumu ku mulamwa Gavumenti gwetambulirako oluva lweyava mu nsiko.
Museveni oluvannyuma yakwasizza Rwabukurukuru obukadde 12 era neyeyama okumusimira ebidiba 2 eby'enyannyanja agaziye faamu y'ebyennyanja byalunda.