ENTEEKATEEKA za Uganda okutandika okufulumya amafuta ziri mu ggiya nga mu kiseera kino enzizi 15 ze zimaze okuzimbibwa mu bitundu by’e Bunyoro.
Gavumenti ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwaku mafuta mu ggwanga ekya Petrolium Authority of Uganda ne kkampuni ya CNOOC Uganda Limited eyakwasibwa omulimu gw’okuzimba enzizi z’amafuta e Bunyoro, baakakasizza nti emirimu gitambula bulungi.
Ttiimu ya Bayinginiya okuva mu kkampuni ya CNOOC Uganda Limited nga bakulembeddwaamu, akulira eby’okuzimba ku Ssengejjero ly’Amafuta erya King
Fisher erisangibwa mu gombolola y’e Kyangwali mu disitulikiti y’e Kikuube, Ying Tonnie Dickson Asiimwe baalaze omulimu we gutuuse.
Ying. Asiimwe yagambye nti omulimu gw’okuzimba essengejjero ly’Amafuta erya King Fisher gutuuse ku bitundu 93 ku buli 100.
Ate omukwanaganya wa kkampuni ya CNOOC n’omuntu waabulijjo Zac Lubega, yagambye nti enzizi z’amafuta 15 ze zimaze okusimibwa ku nzizi 31..
Akulira Uganda Petroleum Authority of Uganda, Ernest Rubondo, Pulezidenti wa CNOOC mu Uganda CNOOC, Liu Xiangdong n’abakumbeze b’e Kikuube nga bakulembeddwaamu Ssentebe wa disitulikiti, Peter Banura baakung’aanidde ku ddwaaliro lya Kyangwali Health Centre IV nga eno Rubondo yagumizza Bannayuganda nti amafuta gasuubirwa okutandika okusimibwa omwaka ogujja olw’ensonga nti emirimu egisinga obungi gikoleddwa