Ukraine ekubye munda mu Russia

MOSCOW/RUSSIA UKRAINE evudde mu mbeera, n’esindika ennyonyi ennwaanyi zeevuga zokka ne zikuba ekkolero lya nukiriya n’omwalo we bakuh− haanyiza amafuta ag’okutunda mu nsi endala ne bituntumuka omuliro munda mu Russia.

Ukraine ekubye munda mu Russia
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MOSCOW/RUSSIA UKRAINE evudde mu mbeera, n’esindika ennyonyi ennwaanyi
 zeevuga zokka ne zikuba ekkolero lya nukiriya n’omwalo we bakuh− haanyiza amafuta ag’okutunda mu nsi endala ne bituntumuka omuliro munda mu Russia.
Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Ssande, nga Ukraine ejaguza olunaku lw’ameefuga, olubeerawo buli August 24, buli mwaka. Ukraine yafuna obwetwaze mu 1991.
Ekkolero lya nukiriya Ukraine lye yakubye, lisangibwa mu bugwanjuba bw’ekitundu ky’e Kursk, kyokka temuli muntu yafiiriddemu okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa BBC.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amawulire ku kkolero lino kyafulumizza ekiwandiiko nga kigamba nti obulumbaganyi bwayonoonye ebintu ebiwerako, kyokka
baasobodde okutaakiriza embeera amangu, ng’omuliro tegunnatuuka ku nukiriya yennyini.
Mu bulumbaganyi obulala, Ukraine yakubye omwalo gw’e Ust-Luga ogusangibwa mu kitundu ky’e Leningrad, we bakung’aanyiza amafuta agagenda okutundibwa mu mawanga amalala.
Minisitule y’ebyokwerinda mu Russia yafulumizza ekiwandiiko, nti eggulo ku Ssande Ukraine yasindise ennyonyi ezeevuga zokka ezisoba mu 100 mu bitundu bya Russia eby’enjawulo, kyokka baalwanye ne bakubako 95 nga zikyali mu bbanga ne zitakola bulabe bwa maanyi. Amawulire gaalaze ng’omwalo gwa Ust-Luga gutuntumuka
omuliro, ng’abazinyamwoto bagezaako okuguzikiza. Bino we bijjidde nga Pulezidenti wa America, Donald Trump yaakamala okusisinkana munne owa Russia, Vladimir Putin, mu kaweefube w’okukomya olutalo luno. Trump yagambye nti kigenda kwetaagisa Ukraine ne Russia okutegeka ensisinkano wakati wa Putin ne pulezidenti wa Ukraine, Volodymir Zelensky boogerezeganye ku by’okukomya olutalo. Yagambye nti abawaddeyo wiiki nga ziizo bategeke ensisinkano eno, oba si ekyo asalewo eky’okukola